MUHAMMAD OMUBAKA WA ALLAH

MUHAMMAD OMUBAKA WA ALLAH
Okusaasira kwa Allah n'emirembe bibeere ku ye

 
 

MUHAMMAD OMUBAKA WA ALLAH

Okusaasira kwa Allah n'emirembe bibeere ku ye

محمد رسول الله صلى الله عليه وسلم باللغة اللوغندية

 

 

 

Abd Ar-Rahman bin Abd Al-Kareem Ash-Sheha

د. عبد الرحمن بن عبد الكريم الشيحة

 

 

Kivvunuddwa:

European Islamic Research Center (EIRC)

& Khalid Jemba

Nekikasibwa:

Muhammad Ahmad Kaweesi

 

www.islamland.com

 

 

../../../../../../../Documents/MY%20SITES%20&%20PROJECTS/PROJECTS%20&%20SITES/ISLAMLAND/profil

بسم الله الرحمن الرحيم

KU LINNYA LYA ALLAH OMUSAASIZI OW'EKISA EKINGI

Amatendo amajjuvu ga Allah, ebyengera n’emirembe bibeere ku nabbi waffe Muhammad n'abantu be n’abagoberezi be bonna. Oluvannyuma lw’ebyo;

Ennyanjula:

Mazima ffe wetuba tuyogera ku Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku ye omubaka wa Allah eri abantu bonna, mazima tuba tuyogera nga okulamula okwo tekuva mubbanga, wabula omuntu asoma ebyafaayo bye nasooma n’empisa ze n’ebimukwataako nga talina busosoze mu nzikiriza ne mu ndowooza z’abantu ajulira okulamula kwaffe. Era nga abenkanya mubatali basiraamu, baasobola okujulira kwekyo, agamba omukenkufu Hasan Ali mu mawulire ga “nuur al-islam”[1] nti: mukwano gwe nga mubalaham yamugamba nti: nze ndaba omubaka wabasiraamu yemusajja omuzito mu nsi yonna era omujjuvu, omukenkufu Hasan namugamba nti: lwaki olaba omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti ye musajja akyasinze obujjuvu mu nsi yonna jooli? Namuddamu nti? Kubanga nsinggaana mu mubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye ebintu ebyenjawulo era empisa nyingi nebitendo nga bimukunggaaniddeko, mu byafaayo by’ensi yonna kumuntu omu mukaseera kamu. Yali kabaka nga ensi ye yonna eri wansi we, nga akola kyonna ky’abeera ayagadde okukola naye wamu n’ekyo yasigala mwetoowaze era nga alaba talina kyalina nti era buli nsonga yonna eri mu mikono gya mukamawe, nga omulaba mu bugagga obwa waggulu nga zimujjira enggamiya mu bungi naye awamu n’ekyo nga asigala mwetaavu mu nnyumba ye temwaka muliro kufumba kyakulya ennaku eziwera, era nga ebiseera bingi yalumwa nga enjala, nga tumulaba muduumizi owamanyi nga aduumira eggye ettono erinafu mu by'okulwanyisa, nalwanyisa nalyo enkumi n'enkumi z’abalwanyi abalina eby'okulwanyisa ebijjuvu naye nabawangula oluwangula olwewunyisa, omusisinkana nga ayagala nnyo emirembe era nga ayagala nnyo okuteesa era nga ateeka emikono ku bukwakkulizo bwe ndagaano nga mutebenkevu nnyo era nga musirivu kyokka nga ali nenkumi z’abagoberezi be nga bonna basajja nantameggwa era nga balwanyi abalina omuliro era nga bajudde okwagala kwe ddiini yaabwe, era omulaba nga okusiima kwa Allah kube ku ye nantameggwa omunywevu yekka nga ayoledde enkumi z’abalabe naye obungi bwabwe tebumutiisa, awamu n’ekyo nga omutima gwe mugonvu era nga musaasizi omukwata mpola atayagala kuyiwa ttondo lya musaayi, era omulaba nga obudde bwe bwonna alowooreza ssemazinga yabuwalabu yenna naye nga yerekereza ezimu kunsonga z’ennyumba ye, n’abaana be, n’abakazi be n’abaavu wamu na abetaavu mu basiraamu asobole okubeera nti afaayo ku nsonga z’abantu abo aberabila omutonzi wabwe era nga bamulwanyisa naye nga afuba okulaba nti balunggama. Okutwaliza awamu ye muntu afaayo ku nsonga ze nsi yonna awamu n’ekyo nga ye yava ku by'ensi akolera Allah we nga alinga atali ku dduniya naye nga kwali, anti nga omutima gwe gwesigamidde Allah yekka era nga akola ebyo byokka Allah byayagala, teyeesasuza ku muntu yenna kululwe nga ye, era abalabe be nga abasabira birungi era nga abaagaliza birungi wabula abalabe ba Allah yali tabasonyiwa era nga tabaleka, teyalekera kutiisa abo abateeka emizizigo mu kkubo lya Allah era nga wabalagaanyisa ekibonerezo ky'omuliro, omulaba nga yerekereza ensi eno nga musinza Allah, ayimirira ekiro okujjukira Allah era okumukowoola era nga wolaba mu bitendo bye nti mazima mujaasi nantameggwa alwana n’ekiso, era omulaba nti mubaka omugezi,nabbi atakola nsobi mu kaseera k'omulabiramu nga aggulawo ensi era amegga ebibinja naye nga asula ku kiwempe era nga akatto ke nga kalimu bimuli bya ntende, omuntu nebatuuka okumuyita omukulembeeze w’abawalabu era nebamuyita kabaka wa’ensi z’abawalabu naye nga abantu be bafa obwavu, oluvannyuma lw'okubeera nti yamujjira nga emmaali enyingi okuva mu bitundu bya ssemazinga wa buwalabu, olujja lw’omuzikiti nelujjula, wabula muwala we gw’azaala najja nga amulopeera obuzibu bwafuna mu kusitula ejjinja era n’okusa obuwunga nga akozesa olubeengo okutuusa n’omukono gwe bwe gwawandula omusaayi era ejjinja nerituuka n’okukosa omubiri gwe okusaasira n'emirembe bibeere ku ye naye nga omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye mu kaseera ako talina budde agabira basiraamu ebyo Allah byeyabagabiridde mu baddu n'abazaana naye era muwala we teyamuwako yadde okujjako ebigambo byeyamuyigiriza engeri gy’asabamu mukama we, era lumu yajja gyali omugoberezi we Umar natunulako mu kiseenge kye nga talina kyalabayo okujjako ekiwempe ekyakolebwa mu njulu nga nabbi kweyesigamye era nga kireese n’obuufu weyesigamila okusaasira n'emirembe bibeere ku ye mpozi nolubatu lwe ngano nga luli mukyombo era nga okumpi nakyo waliwo omuguwa nga gusibiddwa ku nkondo, ebyoi nga byalina omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye mukaseera ogutundu gwa ssemazinga w'abawalabu gwonna nga guli wansi we. Umar bweyalaba nga embeera eri bw’etyo teyasobola kufuga maziga ge era yatumbuka n'akaaba okusiima kwa Allah kube ku ye, nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye namubuuza nti: “kiki ekikukaabya owange umar? Namugamba nti: lwaki ssikaaba nga kaiswar ne kisira beeyagalira ku nsi era nga bemiisa ebyegera byayo naye nga omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye talina kyalina okujjako ebyo byendaba. Namugamba omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: "abaffe tekikusiimisa kuba nti baba n'omugabo kubyengera bye’nsi naffe netuba n’enkomerero fekka awatali bantu balala?!”

Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye bweyamala okwetoloola neggye ly’obusiraamu makka okumuggulawo, Abu-sufian yali ku luuyi lwa Abbas taata wa nabbi omuto nga batunuulira bombi abalwanyi b’obusiraamu nga bakulembeeddwa abantu abamanyifu ntoko, era Abu-sufian yali akyali kunkola ye eyokubeera ekyennyume ky’obusiokusiraamu, yakubwa ensisi okulaba abantu abasiraamu enkumu nga wamu nebika ebyali bibegasseeko, nga bonna bazingizza (ekitundu ekiyitibwa) batwihau mu makka, nga balinga mukoka akulukuta tewali kimuziyiza kyonna, nagamba mukwano gwe nti: owaye Abbas; mazima mutabani wa muganda wo yafuuka dda kabaka owamanyi, Abbas namuddamu era ye alaba endaba yanjawulo kundaba ya Abu-sufian: ekyo kyali tekimanyi bwakabaka owaye Abu-sufian, obwo bwa nabbi na bubaka.

Ne adiyyu altwai nga ye mutaban wa hatim al-zaiu amanyiddwa era akubwako emifaano mu kugaba n'okuyamba, yali nga yakulira abekika kya twayyi-u, lumu yagenda mu lutuula lwa nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nga akyali ku ddiini yekikuristaayo, naalaba okugulumiza kw'abagoberezi b’omubaka eri omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nga balina ebyetaagisa mulutalo byonna nga eby'okulwanyisa n’engabo nga byakwetaasa. Nekimulema okwawuula wakati w'omufuzi ne nabbi, era neyebuuza nti ono kabaka mu bakabaka oba mubaka mu babaka? Yali akyali awo, omukyala omwavu mu bazaana bo mu madinah naggya ew’omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, namugamba nti njagala ku kukuba kaama, namugamba nti “laba wonna woyagala nkulabire mu madinah ndi mwetegefu, yagenda gyaali era namumalira kyeyali yetaaga” yaletebwa abu dauda Albaani nagamba nti ntuufu.

Bweyalaba mutabani wa hatimu altwaiyyu obwetowaze obwamanyi okuva mu mubaka nga ali wakati wabagoberezi be mu kitiibwa ekiri nga ekya kabaka; ekizikiza ky’obubuze kyamuvaako, era amazima negamweyolekera, era nakakasa nti ensonga bubaka bwa Allah bwatyo neyejjako sapuli ze nayingira mu bagoberezi b’omubaka (okusaaira kwa Allah n'emirembe bibeere ku ye) mu kitangaala ky’obusiokusiraamu.[2]

Tugenda kuleeta ebimu kubigambo bya bazungu abatali basiraamu nga bayogera ku Muhammad nga naffe abasiraamu tukkiririza mu bubaka bwe era mubwa nabbi bwe era nga tetwetaaga kuleeta bigambo by’abo wabula ensonga ezibituleesa ziri bbiri:

Ensonga esooka: okuleeta ebigambo bya abazungu abo kisobozese abasiraamu abatalina kyebamanyi mu busiraamu okujjako erinnya babisome, olwo bakimanye nti abatali basiraamu byebayogera ku nabbi wabwe era omubaka w’abwe oyo gwebaleka okugoberera n’okumufaanana osanga enabeera ensonga bo okuddayo ku ddiini yabwe.

Ensonga ey'okubiri: abatali basiraamu babisome bategeere obutuufu bw’omubaka ow'amazima nga biva mu bantu abali mu bo bennyini era nga boogera ennimu zaabwe zennyini, osanga abantu bwebatyo bayinza okulunggama nebeera nga yentandikwa y'okunonyereza okwamanyi gyebali okumanya eddiini eno ekitiibwa. Era nga okusaba kwange eri abantu bwebatyo kwekubeera nti; baleme kubalowooleza kuba nabo balina obwongo era basobola okubukozesa webaba nga bavuddemu obusosoze nebamanya amazima ku bulimba era nebamanya ekituufu ku nsobi. Era essaala yange eri abantu bwebatyo kwekusaba nti Allah aggulawo emitima gyabwe eri amazima era agabalage era abalunggamye eri ekkubo ettuufu.

 

 

 Abd Ar-Rahman bin Abd Al-Kareem Ash-Sheha

 

../../../../../../../Documents/MY%20SITES%20&%20PROJECTS/PROJECTS%20&%20SITES/ISLAML

www.islamland.com

[email protected]

 

 

 

 

OMUBAKA MUHAMMAD YAANI?

OLULYO LWE:

Ye taata Kasimu Muhammad mutabani wa Abdul-llah mutabani wa Abdul-mutwalib, olulyo lwe lutuukira ddala ku Adnan omwana wa Ismael nabbi wa Allah era mutabani wa Ibrahim nfanfe wa Allah emirembe gibeere kubo bombi, maama we ye Amina muwala wa Wahab, era nga olulyo lwe lukoonera ddala ku Adnan mutabani wa Ismael nabbi wa Allah mutabani wa Ibrahim nfanfe wa Allah emirembe gibeere kubombi.

Agamba okusaasira n'emirembe bibeere ku ye “mazima Allah yalonda Kinanah mubaana ba Ismael, nalonda Kuraish mu baana ba kinaanah, era nalonda abaana ba Hashimu mu bakuraish, olwo nalonda nze okuva mu baana ba Hashim” (muslim).

N'olulyo olufaanaganako bwelutyo abeera yasinga abantu bonna olulyo olulungi, abalabe be bakikkiriza ekyo, ono Abu-sufian eyakulira abalabe ba nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nga tannaba kusiramuka akakasa ekintu ekyo mumaaso ga Hirakira owamanyi we Rooma, hadith nga eva ku Abdul llah bin Abbas okusiima kwa Allah kube ku ye: “mazima omubaka wa Allah yawandiikira kaiswar nga amukowoola eri obusraamu, yatuma Dihiyat alkalbi okubeera nti atwala ebbaluwa, era omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yamulagira okubeera nti agiwa owekitiibwa we baswra oyo nga yagenda okugiwayo ewa kaiswar, era nga kaiswar Allah bweyamutaasa eggye lya abafaaris, yagenda ejerusaleem asobole okwebaza Allah olw’ekyo kyeyamuwonya", ebbaluwa weyatuuka ewa kaiswar n’agisoma yagamba nti: munnonyeze wano omuntu yenna nga wa mu bantu be nsobole okumubuuza ku mubaka wa Allah. Ibin Abbas agamba nti Abu-sufian yamugamba nti ye yali shaami nga ali n’abakuraish abaali bageenze okusuubula eshaami mukaseera omubakaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye weyali asirisizza okulwana mundagaano. abu-sufian agamba nti: netusisinkana omubaka wa kaiswar mu shaami, nagenda naye nebannaange okutuusa wetwatuuka ejerusalemu netuyingira, nga yye atudde ku namulondo y’obwakabaka ku ddiiro lye nga ayambadde eggaanduula era nga yetolodwa abakulu ba Rooma, nagamba omutaputa we nti: babuuze ani mu mmwe asinga okubeera okumpi mu lulyo n’omusajja oyo eyeyita nabbi? Abu sufiana agambi nti nagamba nti: nze asinga okubeera okumpi naye mu lulyo, nagamba nti: mwegattira wa mululyo? Nengamba nti: ye mutabani taata wange omuto, era nga kibinja mwetwali temwalimu ava mu nju ya abdul manaafi okujjako nze, nagamba kaiswar nti: mu musembeeze wendi era museembeze banne babeere mabega we, oluvannyuma nagamba omutaputa we nti: bagambe banne nti ngenda kubabuuza ebibuuzo kumusajja oyo eyeyita nabbi, bwannimba mumulimbise, abu sifiana agamba nti: amazima ga Allah singa tekwali kuswala kubeera nti ntekebwako obulimba mubuwangaazi bwange; nandirimbye. Nagamba omutaputa we nti olulyo lw’omusajja oyo luli lutya gyemuli? Nemugamba nti: mazima yye muffe alina olulyo olulungi, nagamba nti: waliwo eyali ayogeddeko yenna ebigambo by’ayogera mu mmwe? Nemugamba nti: nedda, nagamba nti: mu bajajja be mwalimu eyali kabaka? Nemugamba nti: nedda, nagamba nti: abebitiibwa mu bantu bebamugoberera oba aba wansi? Nemugamba nti: aba wansi, nagamba nti: abagoberezi be beeyongera bungi oba bakendeera? Nemugamba nti: bayingiwala, nagamba nti waliwo ava mu ddiini eyo olwobukyayi ku yo oluvannyuma lw'okugiyingira? Nemugamba nti: nedda, nagamba nti: mwali mu mulowooreza obulimba nga tannaba kwogera ebyo byayogera? Nemugamba nti: nedda, nagamba nti: abaffe akumpanya? Nemugamba nti: nedda era nga tuli naye mu ndagaano tetumanyi kiki kyagenda kukola ku yo, Abu sufiana yagamba nti: sasobola kufuna kigambo kyennyingizaawo okujjako ekyo, nagamba nti: mwali mumulwanyisizzaako? Nemugamba nti: ye, nagamba nti: ennwana yammwe naye yaali nga etya? nemugamba nti: olutalo lwaffe naye lugenda kyenkanyi, atumegga naffe netumumegga, nagamba nti: kiki kyabalagira? Nemugamba nti: agamba nti: musinze Allah yekka era temumugattako kintu kirala era muleke ebyo bakitammwe byebogera, era atulagira okusaala, n’okusaddaaka n’ensa, n'okuyunga oluganda. Nagamba omutaputa we nti: mugambe nti nkubuzizza olulyo lwe n'ogamba nti alina olulyo olulungi, ababaka batumwa nga bava mu ndyo ennungi mu bantu baabwe, nenkubuuza nti waliwo eyali ayogedde ebigambo byayogera nogamba nti nedda, ngamba nti singa waliwo eyali ayogedde ebigambo ebyo mumwe, twandigambye nti omusajja akoppa ebigambo abyali byogeddwako. Nenkubuuza nti waliwo mu bajajja be eyali abaddeko kabaka? Nogamba nti nedda, ngamba nti singa waliwo muba jajja be eyali abaddeko kabaka twandigambye nti: omusajja ayagala kukomyaawo bwakabaka bwajajja we. Nenkubuuza nti mwali mumulowolerezzako ku bulimba nongamba nti nedda, kuba nkimanyi nti omuntu tayinza kuleka bulimba eri abantu, ate nalimba eri Allah, nenkubuuza abamugoberera nogamba nti abantu ba wansi; abo nno bebagoberezi ba babaka. Nenkubuuza oba bakendeera nogamba nti beyongera bweyongezi’, nabwekityo ensonga yobukkiriza okutuusa bwejjula. Nenkubuuza oba waliwo ava mu ddiini olw’obukyayi, nogamba nti nedda, nabwekityo obukkiriza webwegatta wamu n’obwanjulukuvu bw’emitima. Nenkubuuza oba akumpanya nogamba nti nedda, nabwekityo ababaka tebakumpanya. Nenkubuuza nti abalagira ki nongamba nti kusinza Allah yekka nobutamugattako kintu kyonna, era nabagaana okusinza amasanamu, nabalagira okusaala, n’okusaddaaka, n’ensa. Mazima wooba nga byoyogera g’emazima, mazima newendi wano aggya kufugawo, era nga nze mbadde nkimanyi nti agenda kuggya wabula nga ssimanyi nti agenda kuva mu mmwe, mazima singa mbadde mmanyi nti nsobola okumutukako nandifubye nemusisinkana, era mba kuba waali nandibadde munaaza ebigere.

Oluvannyuma yatumya ebbaluwa y’omubakaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye eyo jeyali awadde Dihiyat okusiima kwa Allah kubeere ku ye nga egenda ewa omunene we Basirah, bwatyo nagiwayo ewa Hirakra era nagisoma nga mulimu nti: n’erinnya lya Allah omusaasizi wensaasira ebbiri kuno ku nsi agenda okusaasira abakkiriza bokka olunaku lw’enkomerero, okuva ewa Muhammad omuddu wa Allah era omubakaka we, eri Hirakra omunene wa Rooma, emirembe gibeere eri oyo agoberera obulunggamu, oluvannyuma lwebye; mazima nze nkukowoola nenkowoola y’obusiraamu nti siramuka owone, Allah akuwe empeera za mirundi ebiri, wabula wonagaana mazima ogenda kufuna ezzambi lyaba(Arisiyyun) “gamba nti: abange bannanyini kitabo mujje eri ekigambo ekyenkamunkamu wakati waffe nammwe: tuleme kusinza mulala yenna wabula Allah! Tuleme okumugattako kintu kyonna. Era tuleme kusinza abamu muffe okuggyako Allah. bwe babeeranga bakyuse. mugambe: mujulire nti mazima ffe tuli basiraamu” agamba Abu sufian nti weyamala okwogera byeyayogera era namaliriza okusoma ebbaluwa, okuleekaana kwayitirira era malaboozi negasitulwa olwe ffe netufulumizibwa, nenggamba bannange nga tufulumye; mutabani wa abi kabishah (nga ategeeza nabbi) ensonga ye ekutte omuliro. Nekabaka wa Rooma naye amutidde! Mazima nasigala nkikakasizza nti ensonga ye ejja kweyoleka okutuusa Allah weyannyingiza obusiraamu, era nga yali Alnadhuri omukulu we kibuga iliya ne Hirakra nga ba (bishopu) mubakristayo be shaami, agamba nti Hirakra weyagenda eliya okuva olwo omutima gwe gwabiiwa, abamu kubanne nebamugamba nti twetamiddwa embeera zo. Ibin alnadhuuri agamba nti Hirakra yali mulaguzi nga yelaguza ne munyeenye, nnabagamba webamubuuza nti: nze nalabye ekiro bwennatunudde mu munyenye kabaka omutayirire nga amaze okweyoleka, baani abakomola mu bantu baffe? Nebamugamba nti tewali bakomola okujjako abayudaaya, tebakumalira biseera gwe tuma butumi eri buli mukulembeze wekibuga kyonna atte buli mu yudaaya, baali bakyali ku nsonga yabwe newabaawo omusajja eyajja ewa Hirakra okuva ewa kabaka we gassaani nga ategeeza amawulire g’omubakaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, Hirakra bweyamala okufuna amawulire ago yamugamba nti genda omwetegereze oba mukomole, nebamutunirila nebabagamba nti mukomole, nemubuuza kubawalabu nagamba nti bakomola, awo Hirakra nagamba nti oyo yekabaka wekibiina kino amaze okweyoleka, oluvanyuma yawandiika eri mukwano gwe omurooma era nga bombi bali belaguza,era Hirakra nagenda ehimswa, yali yakatuuka ebbaluwa okuva ewa mukwano gwe n'emutukako nga munne yalabye kyekimu kyennyini eky'okujja kwa nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti era nabbi wamazima, Hirakra yakowoola abanene be mu Rooma nebakunggana mu lubiri lwe hamswi oluvannyuma n'alagira enziji neziggalwa olwo nayogera eri abantu be nabagamba nti wemuba mwagala okubeera nessanyu wamu n’obulunggamu era n’obwakabaka bwammwe okunywera; mugoberere nabbi ono, baleekaana nga entulege nga webafuluma, bagenda okutuuka ku milyaango nga waggale olwo Hirakra bweyalaba okudduka kwabwe najjayo essuubi ly’okukkiriza kwabwe yabakowoola nti mukomeewo gyendi, nabagamba mazima njogedde ebigambo byange gyebuvuddeko nga njagala kugezesa bunywevu bwammwe ku ddiini yammwe era mmaze okubalaba, bamuvunnamira era nebamusiima. eyo yeeyali enkomerero ya Hirakra. yayogerwa swalih bin kaisaani ne yunus ne maumar nga bagijja ku zuhuri.

 

 

 

Okuzalibwa kwe n'entandikwa ye okusaasira n'emirembe bibeere ku ye.

Yazaalibwa omwaka 571 (Oluvannyuma lw'okuzaalibwa kwa Isa Mutabani wa Mariyamu) mu kika kya abakuraish abawalabu kyebaali bagulumiza ennyo era nga bakiwa buli kitibwa mu makkah awali wakola nga ekitebe kyokusinza ku ssemazinga w’abawalabu. Anti wewali kaabah eyo eyazimbibwa taata w aba nabbi Ibrahim alaihi salam ne mutabani we ismail alaihi salam, era nga gyebagenda nga okulamaga wamu n'okwetoloola.

Taata we yafa nga akyali mu lubuto lwa nnyina era oluvannyuma lwokumuzaala ne nnyina yafa, olwo nawangaala nga mulekwa, yalabilirwa abdul mutwalibi era nga jajja we oyo bweyafa yadda mu mikono gya taata we omuto abu twalib, era nga ekika kye nebilala ebikyetolodde byali bisinza amasanamu ago gebekolera nga mu miti agamu mu mayinja era namalala okuva mu zaabu. Era nga gaali getoolozebbwa kaaba nga balina enzikiriza nti gegalina obusobozi obuyamba nokukosa. obulamu bwonna bwali bujudde amazima n’obwesimbu era teyakumpanyaako oba okulimba nawadde okukwenyakwenya, yali amanyikiddwa nga al-ameen (omwesimbu) era nga baali bamuteresa ebintu byabwe, era nga abakuumira ebitereke byaabwe nga balina olugendo, era nga weyamanyikwa nga (al-swadik) olwamaziba geyalina mubigambo ne mu mboozi, yali wa mpisa nnungi, nga wabigambo birungi era nga takuba mbogo mukwogera, ayagaliza abantu ebirungi, abantu be bamwagala nga owewala n’owokumpi amuwa ekitiibwa, nga alabika bulungi, amaaso nga tegakoowa kumwoota okusaasira kwa Allah kubeere ku ye, kwegamba nga mulungi enkula n’empisa nga wokiwulira, mukama we amwogera ko bwati: {Era mazima ggwe oli ku mpisa engulumivu} (q:52:4).

Agamba (th. Carlyle)[3] mu kitabo kye eky'abazira "bwotunuulira Muhammad okuva mu buto bwe, yali muvubuka afumintiriza era banne bamuyita nga (aminu) omuntu owa mazima era atuukiriza, amazima mu bikolwa bye nemubigambo wamu ne mu ndowooza ze, era bakyetegereza nti talina kigambo kimuvaamu okujjako nga kirimu amakulu agomunda, mazima nze kyemmumanyi ko nti yali asirika nnyo nga tewali bwetaavu bwakwogera, wabula nga bwayogera oba toyagala muntu yenna ayogere, obuwangaazi bwe bwali bwanjawulo mu mpangaala n'abantu nga mumalirivu ate nga endowooza ye yakikulu, mugabi omulongoosa, mukwata mpola ate atya omutonzi we, omuntu atakuba lwali newankubadde era teyali waboggo era nga tanyumirwa kwawukana, nga musanyufu era nga bulyoomu amuwaana empisa, nga awumba wumba abeera munnaku era oluusi nga omusaanga asaaga, okutwaliza awamu ekyenyi kye kyali kisanyufu essanyu eriviira ddala kuntobo y'omutima ggwe, yali alowooza maangu nnyo era nga amagezi ge moogi nnyo, owa waggulu mu ntondebwa ye, talina ssomero lyeyasomeramu oba omusomesa nti yamusomesa wabula teyalina bwetaavu eri ebyo bwatyo yatuukiriza omulimu ggwe bwannamunigina wakati we ddungu

Yayagalwa okweyawula kubantu nga tannaba kufuuka nabbi, era yasinza nga ekiro kyonna mu mbuku yolusozi Hira era yali okusaasira kwa Allah kube kuyye nga ali wala nnyo n'ebyo ebyakolebwa nga abantu be mubyobugwagwa, teyanywa kumwenge wadde okuvunnamira essanamu oba okulisaddaakira nga abantu be webaali nga bakola, okusaasira kwa Allah n'emirembe bibeere ku ye. yalundira abantu be embuzi, yagamba: "Allah teyatuma nabbi yenna okujjako nga yalundako ku mbuzi, abagoberezi be nebamubuuza nti: naawe? Nagambanti: iyye, nazirundira nga abantu bo mu makkah nebampa ebitundu bye nnusu (karariiti)" (swahih bukhali).

Bweyaweza emyaka 40 okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, yakkibwako obubaka okuva muggulu nga ali mu makkah mu mpuku(hira-u) mweyali asinziza, agamba Aisha maama wabakkiriza okusiima kwa Allah kube ku ye omukyala womubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye: “obubaka obwasooka okukka ku nabbi Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku ye; kyekirooto ekirongoofu, yali nga buli kyalaba mu kirooto kituukirila, oluvannyuma nayagalizibwa okweyawula, yeyawula nga nabeera yekka mu mpuku ye “hira-u" ng'asinza omutonzi we ennaku eziwerako era nga ekyo yakisibirira nga entanda era bweyaggwangawo nga addayo ewa mukyala we khadijah okusiima kwa Allah kube ku ye nafuna entanda endala ekyo yakikolera akabaanga okutuusa amazima bwegaamugira nga ali mu mpuku (hirau), malayika yamujjira nemugamba: soma, nagigamba nti: “nze ssiri musomi. Nagamba nti: nenkwata nennyiga okutuusa wenatendewalibwa, oluvannyuma nandeka naddamu nagamba nti: soma. nemugamba nti: ssiri musomi, nannyiga ogwokubiri okutuusa wenatendewalibwa nandeka era nangamba soma nemuddamu nti: ssiri musomi, era nannyiga ogwokusatu okutuusa wenatendewalibwa nandeka olwo nagamba nti {soma ku linnya lya mukama wo oyo eyatonda ebitonde byonna. Yatonda omuntu nga amuggya mu kitole ky'omusaayi. Soma nemukama wo yasinga obugabi. Yoyo eyayigiriza ne kkalaamu. Oyo eyayigiriza omuntu ebyo byeyali tamanyi.} Yaddayo n'obubaka obwo eri mukyala we khadijah okusiima kwa Allah kbeere ku ye nga bwakankaana namugamba nti: mbikka mbikka" nebamubikka okutuusa weyaggwako okutya nagamba khadijah ekyabaddewo era namutegeeza nti: “nfunye okutya kumutima"khadijah okusiima kwa Allah kubeere ku ye yamugamba nti: nedda tekisoboka Allah tasobola kulekerera, mazima ggwe oyunga oluganda, omulira abantu ebyetaago byaabwe, owa emmali abo abatalina, era ogulumiza abagenyi, era oyamba abo ababeera mubuzibu, namutwala ewa ewa taata we omuto Warakatu bin nawufal bin Asad bin abdul al uzzah nga yali mukatuliki mukiseera kiseera kya (jaahiriyyah), era nga yali awandiika empandiika y'olulimu olulibulaaniya era nga wandika enjiri mululimu olwo ebyo Allah byeyamusobozesa nga okuwandiika, yali musajja muzei era nga yaziba amaso, khadijah namugamba nti: owaye mutabani wa taata, wuliriza mutabani wa muganda wo. warakatu n'agamba omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: owaye mutabani wamuganda wange kiki kyewalabye? Omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye namubulira byeyalaba Warakatu namugamba nti: obwo bwebubaka obwakka ku Musa alaihi salamu, kale ssinga mbadde muvubuka kale ssinga mbeera mulamu akaseera abantu bo webagenda okukugobaganya, omugamba okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nagamba nti “oba nga nze abafulumya" yyee, tewali muntu yenna yali azze nebyozze nabyo okujjako nga awalanibwa, era akaseera ako wendibaawo ndikutaasa olutaasa olwamanyi oluvannyuma wayitawo akabanga katono Warakatu naafa era obubaka awo nebukutukamu akaseera" (swahih bukhali ne muslim).

Neeba nga essuula eyo yeyali entandikwa y'obwanabbi, oluvannyuma yassibwako okusaasira n'emirembe bibeere ku ye etteeka lya Allah erigamba nti: {owangee ggwe eyebikkiridde. situka otiise. Ne mukama katonda wo omugulumize. n'engoye zo zitukuze! N'ebibi bisenguke}. Eyo essuula yeyali entandikwa y'obubaka bwe n'okukowoola kwe era yatandika okwolesa obubaka bwe eri abantu, yatandikira ku bantu be ab'omumakkah era yabafunamu byeyabafunamu mukugaana okukowoola kwe era nga ekyaleeta ekyo kwekuba nti yali azze n'okukowoola okupya gyebali ejudde empaangaala yobulamu bwabwe mu kusinza, ebyobufuzi, ebyenfuna wamu n'okuwangaala ne bannaabwe, okukowoola kwabwo tekwakoma kukwawula Allah nakuleka kusinza bitali ye nokukakkanya amagezi gaabo abasinza ebitali Allah nokuvuma bakatonda baabwe, wabula era yali ebaziyiza ekikolo kyokweyagala kwabwe nobugagga nokwekuluntanza, anti yabaziyiza okwenda, nomweso, nomwenge, era nga weyali akowoola eri obwenkanya wakati wabantu era nti tewali njawulo wakati wabwe okujjako nakutya Allah, abakuraish nga tebasobola kukkiriza kubeera kyenkanyi nabaddu. Era tebakoma kugaana bugannyi wabula bakugobereza ebivumo n'ebinyiizo n'okukongera nti Muhammad okusaara n'emirembe bibeere ku ye mulimba era mulalu ate omulogo ebyo byebaali tebasobola kumutekako nga tannaba kulangirira busiraamu wabula obubuyabuya bwabasinza amanyi nebatandika nokulumya omubiri ggwe, AbdAllah bin masuud okusiima kwa Allah kube ku ye agamba nti: lumu nabbi yali ali ku kaaba nga asaala nga aba kuraish nebakunngaana okuva buli omu gyeyali atudde, awo omu weyagambira nti: abaffe temulaba oyo eyeraga! Ani mu mmwe ayinza okugenda ya gundi aleete obusa, n'ebisaayisaayi n'ekisawo ky'omwana ggwe nngamiya, abireeete amulinde nga avunnamye abiteeke kubibegebega bye. Abasinga obubuya (obukakanyavu bw'omutima) nayimuka omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye weyavunnama nabimutekako olwo bonna nebabuna enseko okutuusa bulyoomu weyagwa kumunne olwenseko enyingi, akawala akato awo nekadduka bunnambiro nekagenda ewa Fatmah najja nga bwadduka okusiima kwa Allah kube ku ye, omubaka nanywerera wansi ku (sujuud) okutuusa fatma weyajja ". (swahihi bukhali)

Ono Muniibu al-azdi agamba nti: nalaba omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye mu jahiliyah nga agamba “abange mmwe abantu, mugambe nti tewali asinzibwa mubutuufu okujjako Allah mwesiime". Mubo mulimu abamufujja amalusu mu kyenyi, era nemubaamu nabamuyiwa enfuufu mu maaso era nga wemwali abamuvuma, Okutuusa wakati wemisana, omuwala najja nekyombo ky'amazzi omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nanaanza omukono ggwe wamu nekyenyi era nagamba nti; “owaye muwala totya kitaawo olw'obwavu oba okakkanyizibwa" (al mu-ujamu alkabeer eya tabalaani).

Uruwatu mutabani wa zubair agamba nti: nabuuza Abdu Allah bin amru bin al-aswi okusiima kwa Allah kube ku ye ambulire aba quraish kyebasinga okubonereza nakyo omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, nagamba nti: “yajja Ukubah bin abi muedi nga omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye asaala ku kaaba neyetolooza olugoye mu nsingo ye namutuga olutuga olwamanyi, okutuusa abubakar weyajja okusiima kwa Allah kube ku ye namusukuma namujja ku nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye namugamba nti: mwagala kutta musajja olw'okuba agambye nti omulezi we ye Allah ate nga mazima abagidde nabunyonnyofu okuva ew'omulezi wammwe? (swahih bukhali).

Ebyo byonna tebyajja nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye mu lamwa, era yali nga atabaala kika ku kika ebyo ebyajja nga emakkah okukola hijja era awo nno abamu okuva emadinah webakkiririza obusiraamu, era nebamusuubiza okumulwanirira bwanabeera agenze ewabwe, yabatumira Musuabu bin umair omu kubagoberezi be okubasomesa obusiraamu era oluvannyuma lw'okufuna obuzibu okusaasira n'emirembe bibeere ku ye okuva mu ba kuraish ye wamu n'abantu abawansi abamugoberera Allah yamukkiriza asenguke agende emadinah, abantu be madinah nebamwaniriza olwanirirza olulungi era madinah nefuuka awafulumira okukowoola kwe okusaasira n'emirembe bibeere ku ye era nga weyafuuka ekibuga ekikulu kyassemazinga w'obusiraamu, yatebenkera okusaasira n'emirembe bibeere ku ye mu madinah era natandika okubasomesa Kura'ane wamu n'okubayigiriza oburaamu. Bakyuka nnyo olw'empisa za nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye ennungi n'ebitendo bye ebyawaggulu era ne bamwagala okusinga newebeyagala, basindana nga mu kumuwereza era nebawaayo ebintu byebbeeyi mu kkubo lye, bwebatyo bawangaala empangaala y'obukkiriza n'obumu obujudde essanyu, obubonero bw'okwagalana,n'obwasseluganda wakati wabwe bweyoleka nebukya enkya nga omugagga n'omwavu oba owekitiibwa n'owawansi oba omuddugavu n'omweru n'omuwalabu natali nga bonna bali kimu mu ddiini eno eyamaanyi nga tewali njawulo okujjako asinga okutya Allah, oluvannyuma lw'omwaka gumu nga amaze okutebenkera mu madinah yatandika okusaasira n'emirembe bibeere ku ye okwennganga abantu be abo abamubonereza mu kutambuza obusiraamu era olutalo olwasooka mu busiraamu lwe lutalo lwe Badri, wakati w'ebibinja ebibiri nga byawukanira ddala mu muwendo nemukwetegeka abasiraamu baali abalwanyi bisatu kumi na bana (314) ate nga abalabe bali lukumi (1000), bwatyo Allah yayamba omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye n'abagoberezi be era okuwangule kwali kwabwe, oluvanyuma okulwanagana kwaddilinggana wakati w'abasiraamu n'abantu baabwe abagatta ku Allah, oluvannyuma lwe myaka munaana yasobola okutegeka eggye lya bantu mutwalo gumu (10000) n'agenda naryo e Makkah okugiggulawo makkah era nawangula abantu be be abo abamunyiiza na buli kika ky'ebinyiizo, ne babonereza n'abantu be n'ebibonerezo ebya buli kika okutuusa webakakibwa okuleka eby'obugagga byabwe n'abaana baabwe n'ensi yabwe bwebatyo nebawangulwa oluwangulwa, era omwaka ogwo negutumibwa omwaka gw'obuwanguzi ogwo Allah gwayogerako nagamba nti {bwe kuliba kuzze okutaasa kwa Allah nobuwanguzi. oliraba abantu nga bayingira mu ddiini ya Allah ebibinja n'ebibinja. kale tendereza ebitendo by, omulezi wo era omwegayirire akusonyiwe, mazima ye akkiriza okwenenya}.

Oluvanyuma yakunnganya abantu be makkah nabagamba nti: “mulowooza mbakolere ki? nebagamba birungi byerere muganda waffe omulungi era mutabani wa muganda waffe omulungi, nabagamba nti: “mugende mazima mbatadde " (sunani al baihaqi al-kubrah).

Ekyo kyaletera abantu bangi okusiramuka era oluvannyuma yaddayo emadinah era wayitawo akabanga naddayo emmakah okukola hijja n'abantu emitwalo kumina gumu mw'enkumi nnya (114000) abamuwerekera, era hijja yamanyikibwa nga (hijjatu al-widaa) olwokuba nti yalinga esiibula abasiraamu olw'okusembera kw'okufa kwa nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye. Yafiira mu madinah olunaku lwa bbalaza nga kumi na bbiri omwezi ogw'okuna omwaka ogwekumina gumi oluvannyuma lw'okusenguka era naziikibwa mu madinah, abasiraamu bafuna ekikangabwa olw'okufa kwe era abamu ku bagoberezi be baagaana okukkiriza amawulire g'okufa kwe nga Umar bin khatwabi okusiima kwa Allah kube ku ye nagamba nti: gwempulira nga agamba nti Muhammad afudde mujjeeko ensingo, bwatyo abubaker nayimuka nasoma etteeka lya Allah {tali Muhammad wabula mubaka bubaka. Mazima baayita oluberyeberye lwe ababaka. bwaba nga afudde oba nga attiddwa olwo nga mukyukira ku bisinziiro byammwe? n'omuntu anakyukira ku bisinziiro bye tajja kulya Allah n'akatono mu kintu kyonna era Allah wakusaasira abebaaza} (al Imoran:144). Umar weyawulira ettaka yakoma awo anti okusiima kwa Allah kube ku ye yali tawulira tteeka lya Allah ate naddamu, yafa okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nga alina emyaka nkaaga mu esatu, yamala mu makkah emyaka ana (40) nga tannaba kukkibwako bubaka, oluvannyuma lw'okutumwa namalamu emyaka ku mina esatu nga akawoola eri kwawula Allah, oluvannyuma naseengukira emadinah nabeerayo emyaka kkumi obubaka bwamukkako obutaddiliza nga ali mu madinah okutuusa kuraane weyaggwayo era amateeka g'obusiraamu ne gajjula.

Agamba dr. G. Lebon mu kitabo kye okulakulana kwa abawalabu: (wetuba tupimye abasajja okusinziira kubusuffu bwemirimu gyabwe, Muhammad y'aba asinga mu byafaayo, era osisinkana abayivu mubazungu nga bakozesa amazima ku Muhammad newankubadde banji mubayivu b'ebyafaayo enjawukana mu nzikiriza yabaziba amaaso nebalemwa okukkiriza eddaala lye).

 

 

Ebitendo bye okusaasira n'emirembe bibeere ku ye

Yali wakiwago nga muwanvu wakati we bibegabega, nga enviri ze zigwa kumatu nga tewali yali amusinga bulungi era nga wewataali amuwunya mu mpisa okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, nga simuwanvu nnyo ate nga ssi mumpi, teyali mweru nnyo ate nga ssi muddugavu enviri ze nga ssi za kaweke ate nga ssi za museetwe nnyo yali afaanana bulungi nnyo yali mweru nga ayaka nga alinga alina ebipapajjo bya ffeeza mu kyenyi, yalina langi ennungi nga entuuyo ze ziri nga diamond. Yalina ekirevu kingi, Jaabir bin samorah yabuuzibwa okusiima kwa Allah kubeere ku ye oba nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yali amasamasa nga ekiso, yaddamu nti: (yali ayakayakana nga enjuba nomwezi era ekyenyi kyali kyetoloovu.)

(muslim), yalina emimwa emigazi, nga muwanvu wakigero, nga eriiso lyakigero, wa nsigo ntonotono, mweru wakigero ssi munene nnyo, ate ssi mutono, nga ssi mumpi ate nga ssi muwanvu, emikono nebigere byali binene era n'ebibati bye bigazi, agamba Anas okusiima kwa Allah kubeere ku ye nti: nti sikwata nga ku lugoye lwa liri lugonda kusinga kibatu kya nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, era siwulira nga ku kawoowo kawunya bulungi kusinga kawoowo ka nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye). (swahih bukhali ne muslim).

 

 

Ezimu ku mpisa ze n'ebitendo bye

1. Obujjuvu bwa amagezi: yalina amagezi agatatuukibwa nga ko muntu yenna okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, agamba qadhi iyaadh: ekiraga ekyo ebisangiba oyo aba anonyerezza ku mpangaala ye nebyafaayo bye era n'asoma ku bigambo bye ebikunnganya amakulu, n'obulungi bw'ebitendo bye, n'ebyama ebiri mu hadith ze, n'okumanya kw'ebyo ebiri mu tauraat n'enjiri wamu n'ebitabo ebyakka okuva ewa Allah, n'ebigambo byabakenkufu, nebyafaayo by'abantu abasooka wamu n'okuwa eby'okulabilako n'engeri y'obukulembeze bw'abantu n'ebyobujjanjabi n'okubala,n'okugaba emmaali yabamulekwa n'ebilala bingi, wamu n'ekyo nti teyali muntu nti yasomako oba alina ebitabo byeyatunulako nga byankulakulana nawadde okuba nti yatulako wansi w'omumanyi yenna, wabula yali nabbi atamanyi kusoma okutuusa Allah weyayanjuluza ekifuba kye namunyonnyola ensonga ye era namuyigiriza okusoma, era ebyo Allah byeyamuyigiriza byasinzirira kumagezi geyalina bwatyo namumanyisa ebimu kwebyo ebyali bibaddewo mu byewunyisa byokugera kwa Allah wamu n'obunene bw'obwa kabaka bwe (ashifah bitaareef huquq al-mustafah).

2. Obugumiikiriza mukukowoola eri obusiraamu nga asuubila empeera okuva ewa Allah: yali kabaka wabagumiikiriza okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, yanyiizibwa mukukowoola eri obusiraamu nebinyiizo ebyenjawulo, naye nagumiikiriza nga asuubira okusasulwa okuva ewa Allah, agamba ibin maseud okusiima kwa Allah kubeere ku ye nti: nzijukira omubaka okusaasir n'emiremabe bibeere ku ye nga anyumya omu kuba nabbi eyakubibwa abantu be – naye nga naye asangula musaayi mukyenyi kye nga wagamba nti: “ayi Allah sonyiwa abantu bange kuba tebamanyi" (yegattibwako), agamba Jundubi bin sufian okusiima kwa Allah kubeere ku ye nti: omubaka yafuna ekiwundu kulugalo lwe muzimu kuntalo nagamba nti (mazima gwe toli okujjako lugalo olufunye ekiwundu nga luli mukkubo lya Allah lusuubira empera jaali) (yegattibwako).

3. Okukola ku lwa Allah: yali okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nga buli kyakola kyonna akikola ku lwa Allah nga Allah weyamulagira, agamba Allah eyatukula nti: {gamba nti: mazima okusaala kwange, nemirimu gyange gyenkola nobulamu bwange n'okufa kwange, bya Allah omulezi w'ebitonde. Talina amwegattako, nekyo kyennalagirwa, nange nze owoluberyeberye mu bamugoberedde.} (Al an-aam:162-163).

4. Okweyisa obulungi n'okuwangaala obulungi n'abantu be: agamba mukyala we Aisha okusiima kwa Allah kubeere ku ye nti “webamubuuza kumpisa ze yagamba nti “empisa ze zaali kuraani" (musinad imam ahmad – swahih) ekye kitegeeza nti yali ateeka mu nkola ebiragiro bya Allah era nga yewala ebyo Allah byeyagaana, nga akolera era nga atendebwa nabirungi byokka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye era nga aleka ebyo byonna eby'obugwenyufu ebyeyolese n'ebyekwese, ekyo nno tekyewunyisa kuba mwennyini yagamba nti: “mazima natumibwa kujjuliriza empisa ennungi" (swahih muslim). Owekitiibwa Allah ymutenda n'agamba nti: {era mazima ggwe oli ku mpisa engulumivu} (surat al kalamu: 4), Anas bin malik agamba okusiima kwa Allah kubeere oluvannyuma lw'okuwereza nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye emyaka kkumi emisaana n'ekiro, mu nngendo n'ewaka nayiga embeera ze okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: "yali omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nga yasinga abantu bonna empesa ennungi" (yegattibwako). Era ayongera nagamba nti: teyali nabbi wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye omuvumi oba omuwemuzi wadde omukolimi, weyayagala okunenya omu muffe nga agamba nti: "abadde ki ettaka gweliyikidde" (swahihi bukhali).

5. Enneeyisa ye: agamba sahal bin saad okusiima kwa Allah kubeere ku ye nti: omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye bamuleetera ebikunywa n'anywa nga waliwo omulenzi ku ddyo we n'abantu abakulu nga bali ku kkono, nabuuza omuleenzi nti onzikiriza mpe basajja bakulu bano ndyooke nkuwe? Omulenzi nagamba nti: nkulayirira ggwe omubaka wa Allah, ssisobola kwelekereza mugabo gwange jooli nenguwa omuntu omulala yenna, n'amukwasa eky'okunywa " (yegattibwako).

6. Okwagala okutabaganya: sahal bin saad agamba nt: abantu be kuba balwanagana nebatuuka n'okwekasukira amayinja, omugamba okusaasira n'emirembe bibeere ku ye bweyakitegeera nagamba nti: “mututwale yo tubatabaganye" (swahih al bukhali).

7. Okulagira ebirungi n'okuziyiza ebikyamu; agamba abdul llah bin abbasi okusiima kwa Allah kubeere ku ye: omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yalaba omusajja nga ayambadde empeta ya zaabu ku ngalo n'agimusikako n'agikasuka nagamba nti: “omu mumwe akwata eryanda mu bugenderevu naliteeka mu ngalo ze". Nebagamba omusajja nti: gijjeewo wegase nayo, nagamba nti: sisobola kujgijjawo nga nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye agisudde (swahihi muslim)

8. Yayagala nnyookwetukuza: agamba muhaajir bin kanfazi okusiima kwa Allah kubeere ku ye nti yagenda ewa nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nga akunkumula namuwa salaamu nagaana okugiddamu namwenenyeza oluvannyuma namugamba nti: “mazima nze ntidde okwogera ku Allah nga ssiri mutukuvu" (sunani abi dauda).

9. Okukuuma olulimi: agamba Abdu Allah bin abi awufah okusiima kwa Allah kubeere ku ye nti: yali omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nga ayogera nnyo ku Allah ate nga yewala ebitalina mugaso era nga awanvuya nnyo esswala ate nga ayimpaya okubuulirira ate nga teyekuluntaza mu kumala ebizibu by'aba namwandu ne bamulekwa" (sunani nasaai) albani ngiramula nti ntuufu mu kitabo swahih aljaamiu 5005.

10. Okuyitiriza okusinza Allah; agamba Aisha okusiima kwa Allah kubeere ku ye nti: "omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yali ayimirira ekiro okutuusa ebigere bye bwebizimba nebimuluma, Aisha namubuuza nti: lwaki okola bwotyo owaye ggwe omubaka wa Allah nga ate Allah yakusonyiwa ebyemabega nemumaso? Nagamba nti: “abaffe toyagala mbeere omuddu eyeebaza!" (yegattibwako).

11. Obukwata mpola: agamba abu hurairahh okusiima kwa Allah kubeere ku ye nti: tufair bin amru addawusi nebanne bajja ewa nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nebamugamba nti owaye omubaka wa Allah: “mazima abadawusi bajeemye era nebagaana basibire Allah abatekeko ebikyamu. Abantu nebagamba nti abadawusi bamaze okuzikuirira, nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nagamba nti: “ayi Allah nkusaba olunggamye abadawusi era obaleete nga basiraamu" (yegattibwako).

12. Endabika ennungi: agamba bara-a bin azibu okusiima kwa Allah kube ku ye nti: “yali omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nga mugazi wakati we bibegabega bye, nga enviri ze ziggwa ku matu, namulaba mu lugoye olumyufu naye ssilabangako muntu kintu kirungi kumusinga" (yegattibwako).

13. Okwesonyiwa obulamu bw'ensi: agamba abdul llah bin masuud okusiima kwa Allah kube ku ye nti: omubaka yeebaka ku kiwempe nazuukuka nga aliko emisalo, netumugamba owaye ggwe omubaka wa Allah: “olaba otya singa tukufuniddeyo akatto keweesigama. nagamba nti: "siyina kyenjagala ku dduniya, nze ku dduniya ninga omutambuze eyewogomye mu kisiikirize oluvannyuma nakivaamu" (sunani tirmith) albaani nagiramula nti ntuufu eri mu swahih tirmith

Hadith nga eva ku amru bin alharith okusiima kwa Allah kube ku ye agamba nti: “teyaleka omubaka wa Allah ku nsi oluvannyuma lw'okufa kwe dirhamu oba dinar wadde omuddu oba omuzaana, wadde ekintu kyonna okujjako ekyebagalo kye ekyeru nekitala kye mpozi nettaka lyeyawaayo nga sadaka" (swahihi bukhali).

14. okwerekereza ku lw'abalala: agamba sahal bin saad okusiima kwa Allah kubeere kuyye nti: omukyala yajja ewa nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye ne (burdat) omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nagamba nti: mumanyi kyebayita burdat? Nebamugamba nti: ye, kika kyakyambalo kibeera kitunge mumabbali g'akyo. Omukyala nagamba owaye omubaka wa Allah: mazima nze nakitunze nga kikyo nemikono gyange, omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yakitwale nga era mwetaavu wakyo, yajja gyetuli nga akyambadde nga enkutu ye, omusajja omu n'agamba nti kimpe, omubaka nagamba nta iyye, abantu nebamugamba nti: okoze bubi okusaba omubaka olugoye olwo, okimanyi bulungi nti omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye tasobola kumma abeera amusabye, omusajja nagamba nti: ndumusabye lubeere essanda yange nga nfudde. Agamba sahal era yali ssanda ye bwe yafa. (swahihi bukhali)

15. Obukkiriza obunywevu n'okwesigamira Allah: agamba abubaker swadik okusiima kwa Allah kubeere ku ye nti: “nnalaba ebigere bya abakuraishi nga bituli ku mitwe waggulu nga tuli mu mpuku nenggamba nti: owaye omubaka wa Allah! singa omu kubo atunula ku kigere kye aba amaze okutulaba, nagamba nti: owaye abubaker olowooleza ki ababiri nga Allah yewokusatu" (yegattibwako).

16. 0kusasiira: agamba katadah okusiima kwa Allah kubeere ku ye nti: “yajja omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nga asitudde umaamah bin abi al-as nasaala naye, nga bwakutama nga amuteeka wansi, bwayimuka nga amusitula" (yegattibwako).

17. Okwanguyiza: agamba Anas okusiima kwa Allah kube ku ye nti omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yagamba nti: "oluusi nyingira mu sswala nga njagala kuwanvuya nempulira omwana akaaba nenkendeeza olw'okuzitowererwa kwemmanyi maama we kwawulira nga akaaba" (bukhali).

18. Okutya Allah; agamba abu hurairah okusiima kwa Allah kubeere ku ye nti omubak awa Allah yagamba nti: “mazima ngenda ewange nensisinkana entende nga egudde ku buliri bwange naye nentya okugirya kuba eyinza okuba eya zzaka nengisuula". (kuba takkirizibwa kulya sadaka).

kube ku ye nti: “omubaka teyasabibwa kulwobusiraamu kintu kyonna okujjako nga yakiwa ngayo, lumu omusajja yajja gyali namuwa embuzi ezijjuza wakati w'ensozi ebbiri naddayo eri abantu be nabagamba nti: abange mmwe abantu bange; musilamuke, mazima Muhammad agaba ebintu nga taata nabwavu " (swahih muslim).

20. Okwagala okuyambagana: Agamba Aisha okusiima kwa Allah kube ku ye webamubuuza engeri omubaka weyeyisa nga ewuwe: yali ayamba abantu be ku mirimu ewaka, esswala weyatuuka nga nagenda nasaaza" (swahih al bukhali).

Agamba bala-a bin azibu okusiima kwa Allah kube ku ye nti: “nalaba nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye mulutalo lwa khandak (lw'oluwonko), nga asomba ettaka okutuusa enviiri ze wezaabuna ettaka ate nga musajja eyalina enviiri enyingi nga wawuliriza ebigambo bya abdul llah bin lawahat ebigamba nti: ayi Allah singa tewali ggwe tetwandilunggamye era tentwandisaddaase oba okusaala, tuikkirire era onyweze ebigere byaffe bwetuba tusinkanye abalabe- mazima abalabebatuyitiriddeko …"nga bwasitula eddoboozi lye" (yegatibwako)

21. Amazima: amwogerako mukyala we Aisha okusiima kwa Allah kube ku ye nti: “tewali muze nabbi gwetamwa nga bulimba, omuntu bweyalimba nga mu maaso ge yamwetamwa nga okutuusa weyamanya nga nti yenenyezza" (sunani tirmith, albaani nagiramula nti ntuufu mu kitabo kye aswahih 2o52).

Abalabe be bakkiriza nti wamazima, abu jahar yeyali asinga obutaagala mubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, lumu yamugamba nti: "owaye Muhammad, nze sisobola kugamba nti oli mulimba, wabula nimbisa ebyo byewajja nabyo, awo nno Allah kwe kussa etteeka erigamba nti: {mazima tumanyi nti ddala bikwennyamiza ebyo byeboogera, mazima bo tebakulimbisa (ggwe Muhammad), naye mazima abalyazaamanya obubonero bwa Allah bwebawakanya} (alanaam 33).

22. Okwewara ebyo Allah byeyagaana: agamba Aisha okusiima kwa Allah kube ku ye nti: “omubaka teyawebwa nsonga bbiri alondeko emu okujjako nga alondako esinga obwangu ebbanga wemala nga ssi zambi, weryabeera nga ezzambi yali nga wala nnyo nalyo, mu linnya lya Allah teyawoolera ku ggwanga ku lulwe okujjako eri oyo eyabuuka nga ensalosalo za Allah nga amuwoolerako eggwanga" (yegattibwako).

23. Okumwenya: agamba Abdu Allah bin alhalith nti: “siraba nga ku muntu yenna asinga mubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye kumwenya" (suani tirmith).

24. Obwesigwa nokutuukiriza: yalina obwesigwa obutaali ku muntu yenna, newankubadde abantu be makkah bamuyigganya n'abagoberezi be, wabula tebaalekayo ku muteresa bintu byabwe ebingi obutagambika. okutuusa n'okuleka mutabani wa taata we omuto Ali bi Abi twalibu okusiima kwa Allah kube ku ye emabega ennaku satu nga asenguka asobola okuzza ebitereso n'obwesigwa eri bannannyi byo. (sirat bin hishaamu 3/11).

N'ebimu ku biraga okutuukiriza kwe endagaano, kwekuba nti webawandiika endagaano okusaasira n'emirembe bibeere ku ye ne suhair bin amri olunaku lwa hudaibiya ku nsonga yakiseera kyemirembe, suhair yateekawo akakwakkulizo nti: omuntu yenna ava e makkah newaaba asiramuse alina okuddizibwa emakkah era suhair nakiremerako, abakkiriza baakitamwa era kyabazitoowerera nebakyogerako, suhair weyalemera ku kakwakkurizo kano omubaka nakkiriza, baali bakyali awo, Abu jandal bin suhair bin amri najja nga atambula mpola mpola nga musibe enjegere, nga ava mu kiwonvu kya makkah okutuusa weyesuula wakati w'abasiraamu, suhair bi amiri taata wa abu jandali nagamba nti: oyo gwensokerako okutuukiliza akakwakkulizo mukomyewo gyendi, omubaka namugamba nti “mundekere" nagamba nti: sisobola kumukulekera, omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye “kikole", suhair nagamba nti: ssiri wa ku kikola.. abu jandali kyamukwatako neyeebuuza ku basiraamu nti; abaye basiraamu mwe, mazima nzireyo mu bagatta ku Allah n'ekintu ekirala ate nga mmaze okutuuka gyemuli? Abaffe temulaba byenfunye, yenna nga bamubonerezza olubonereza olunene ku lwa Allah. wabula omubaka yamuzzaayo eri suhair okutuukiriza endagaano. (swahih bukhali). Omubaka nagamba abu jandali: “owaye abu jandali, gumiikiriza era osuubire empeera ewa Allah, mazima Allah wakukuteera wo ggwe nebanno abakkakkanyizibwa obufulumiro, mazima ffe twakoze n'abantu abo endagaano ate ffe tetwawukana ku ndagaano" (musnad imam ahmad). Oluvannyuma nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yaddayo emadinah, abu buswair – omu ku bakuraish- najja jaali nga asiramuse, nebamusindikira abasajja babiri bamuzzeeyo, nebagamba nti: endagaano gyetwakola? Namuwaayo okusaasira n'emirembe bibeere ku ye.

25. Obuzira n'obutaddirira ku nsonga: agamba Ali okusiima kwa Allah kube ku ye nti: “nakulabira olunaku lwa badir nga fenna twekukuma mu nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye era nga yatusinga okubeera okumpi n'omulabe, era yeyasinga okuba ow'obulabe ku lunaku olwo". (musnad imam ahmad).

Ate obuzira bwe awatali lutalo, agamba Anas bin malik okusiima kwa allha kube ku ye nti: “yali omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye asinga abantu bonna obulungi era n'obuzira era abantu be madinah lumu bafuna ekikangabwa bonna nebafuluma bagende gyebaali bawulidde eddobozi, nebasinngaana nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye n'aboolekera nga yamaze dda okutegeera ekibaddeyo, yali ku mbalaasi ya abu twalha era nga ayambalidde mu singo ye ekitara nga bwagamba okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: “temutya,temutya. oluvannyuma nagamba: embalaasi tugisanzeemu emisinde" (yegattibwako). Kitegeeza buzira, abantu be madinah bonna badduka eri ekikangabwa okumanya ekibaddewo kyokka nga nabbi ye yagenzeeyo yekka nga kuzesa ensolo etadduka kumbe ensonga yali yetaagisa ensolo enzirusi nga ekiso kimuli mu bulago kubanga kiyinza okwetaagisa, era nabategeeza nti ensolo nzirusi, teyarinda bantu bagende naye oluvannyuma lw'okumanya ekikangabwa.

Ate mu lutalo lwe uhud, yebuuza ku bagoberezi be okusaasira n'emirembe bibeere ku ye era nabo okusiima kwa Allah kubeere kubo nebasalawo nti kulwana naye nabbi yali ssi kyeyali ayagala wabula yasalawo agende n'ekyo, wabula ate bo abagoberezi bejjusa oluvannyuma okusiima kwa Allah kubeere kubo olwekyo kuba ye yali tayagala kulwana era ba answaar bagamba nti twazzeemu omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye kukilowoozo kye nebajja nebagamba owaye nabbi wa Allah: tuli ku: “nabbi tayambala kyambalo kyalutalo nakijjamu okutuusa nga alwanye" (musnad imam ahamad era albani nagiramula nti ntuufu mu kitabo kye alswahi 1100).

26. Obugabi: agamba ibin Abbas okusiima kwa Allah kube ku ye nti: "nabbi yali mugabi nnyo, ate webwatuuka nga mu ramadhani nga ayitiriza akaseera jibriil weyajjira nga gyaali, nanti jibriil yamusisinkana nga buli kiro kya ramadhan nebasoma kuraan, era omubaka agaba buli kalungi n'okusinga empewo ekunta".(yegattibwako).

Agamba abu zari okusiima kwa Allah kubeku ye nti: nnali ntambula ne nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye mu kimu ku bitundu bye madinah, netusisinkana omuntu omu, omubaka nagamba nti: “owaye abu zarri " nenziramu nti: nyanukudde owaye omubaka wa Allah, nagamba nti: “siyinza kunyumirwa kuba na zzaabu eyenkana olusozi uhudi obungi newayitawo olunaku lumu oba satu nga nsigazazako dinar okujjako nga mu saddaase nga ngeenze eri abaddu ba Allah nengamba nti kwata kwata kwata" kuddyo ne kukkono n'emabega" (swahih albukhali).

Agamba jaabir bin abd llah okusiima kwa Allah kube ku ye nti: “nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye teyasabibwa ku nsonga yonna nagamba nti: nedda" (swahih bukhali ne muslim).

27. Ensonyi: agamba abu saed alkhuduri okusiima kwa Allah kube ku ye nti: "ensonyi omubaka zeyalina nga zisinga nez'embeerera emabega wa kateni, nga bwaba alabe ekintu kyatayagala tukirabira mu kyenyi kye" (bukhali ne muslim).

28. Obwetoowaze: yeeyali asinga abantu bonna obwetoowaze, okutuusa nti omuntu yamusisinkana nga mu muzikiti nga ali n'abagoberezi be nga kizibu okumwawula ku bo, agamba Anas okusiima kwa Allah kube ku ye nti "twali tutudde n'omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye mu muzikiti, omusajja najja n'endogoyi ye nagiyingiza n'agisiba mu mamuzikiti, oluvannyuma nagamba nti: ani Muhammad ku mmwe? nga nabbi yesigamye wakati w'abagoberezi be: netumugamba nti: oyo omusajja omweru eyesigamye." (swahih bukhali). Era ekyo kyaliwo olw'obutasobola kumwawula ku bagoberezi be. yali teyekuluntanza mu kumalira abanafu ne bamasiikiini n'abetaavu ebyetaago byabwe, agamba Anas bin malik okusiima kwa Allah kube ku ye nti: omukyala omu emadinah yali alina obuzibu ku bwongo bwe, yagamba omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: nnina obwetaavu gy'oli, nagamba nti: "owange maama londa wonna woyagala mu makubo, nkusisinkane nsobole okukumalira ekyetaago kyo" neyeyawula naye okutuusa weyamumalira obuzibu bwe" (muslim)

29. Era agamba ibin masuud okusiima kwa Allah kube ku ye nti: omusajja yajja ewa nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye namugamba nti: “mazima oluusi nkeerewa okusaala esswala y'emisana olwa gundi alwisaawo, yagamba: siraba nga ku mubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nga abuulira n'obusungu nga bweyakozesa kw'olwo, abange mmwe abantu mazima mu mmwe mulimu abatamya (abaddusa abantu), omu ku mmwe bwaba asaazizza mazima ayanguyeeko (afunze esswala), olw'ensonga nti mu mmwe mulimu abakadde n'abanafu n'abalina obwetaavu" (bukhali ne muslim).

Usama bin zaid okusiima kwa Allah kube ku ye agamba nti: twali tuli n'omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, newajja omubaka wa muwala we nga amuletedde amawulire nti mutabani wa muwala we agenda kufa. Nagamba nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye: “ddayo omugamba nti Allah atwala kyaba ayagadde era agaba kyaba ayagadde era buli kimu kitegeke gyaali, mugambe agumiikirize era asuubire empeera ewa Allah" omubaka nakomawo nagamba nti akulayiridde nakugamba gendayo, nabbi naayimuka ne saad bin ubadah ne muazi bin jabal nebaleeta omwana gyali nebamumukwasa, nga asikodoka nga alinga ali mu ppipa y'amazzi, nabbi nakulukusa amaziga, saadi n'amugamba nti: kiki ekyo omubaka wa Allah? Namugamba nti: “okwo kusaasira, Allah kweyateeka mu mitima gy'abaddu be era Allah asaasira mu baddu be abo abasaasira" (bukhali ne muslimu)

29. Okusonyiwa: agamba Anas bin malik okusiima kwa Allah kube ku ye nti: "nali n'omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nga ayambadde (burudu)- kika kya lugoye – okuva enajiran nga lugumu, munnamalungu namusisinkana n'amukwata amataayi, n'amunyweza olunyweza olw'amanyi, okutuusa bwennalaba nga olugoye lusaze emisalo ku nsingo ya nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye olw'amanyi omusajja geyakozesa, oluvannyuma namugamba nti: owaye Muhammad lagira bampe ku mmali ya Allah gy'olina. Nabbi nakyuka gy'ali n'aseka oluvannyuma n'alagira nebamuwa " (ntufu), nemubyokulabilako byobukwata mpola ye hadith ya zaid bin saan-a eyali omusossodooti w'abayudaaya - bweyawola nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye weyali omwetaavu okusoobola okumala ebimu kubyetaago by'abo abetaaga okuwumba wumba emitima gy'abwe. Agamba zaid nti: wali wabulayo ennaku bbiri oba ssatu olunaku lw'okumusasula lutuuke, nabbi nagenda okuziika omu kuba answaar nga ali ne abubaker ne umar ne uthman n'abamu ku bagoberezi be, bweyamala okusaasira omufu natuula, nemukwata ku kanzu ye nemutunuulira n'eriiso ekkambwe oluvannyuma nemugamba nti: lwaki tonsasula bbanja lyange owaye Muhammad? Nkulayirila Allah abaana ba abdul mutwalibu nakolagana nammwe akaseera naye nga muli basasuzi, agamba nti: nentunula ewa umar bin alkhatwabu nga emmunye ye yetoloola nga ekire oluvannyuma nankuba eriiso ekkambwe nagamba nti: mulabe wa Allah ki ono! Ogamba omubaka wa Allah ebyo byempulidde, nomukola n'ebyo byendabye, nkulayirira Allah oyo eyamutuma n'amazima, singa mbadde sitya kumukwasizaamu nandibadde nkujjako ensingo n'ekitala kyange kino, omubaka awo wonna nga atunuulidde umar n'obukkakkamu, oluvannyuma n'agamba nti: “tubadde tuyina kyetukwagalamu ekisinga kw'ekyo, kwekundagira okusasula obulungi, naye n'omukuutira okubanja obulungi, genda naye omusasule ebbanja lye, omwongeremu ebipimo (swa-a) amakumi abiri olw'okumutiisatiisa kwokoze" agamba zaid nti: umar yagenda nange n'ansasula era nannyongeramu nga nabbi bweyamugamba, nemubuuza nti owaye umar ate ennyongeeza eno yaaki? nagamba nti: nabbi andagidde nkwongeremu olw'okukutiisatiisa. Nemugamba ti: ommanyi nze? nagamba nti: nedda, ggwe ani? Nemugamba nti; nze zaid bin sa-anah, nagamba nti: omusossodooti? Nemugamba nti: yyee omusossodooti. Nagamba nti: kiki ekikukozesezza ekyo ku mubaka wa Allah? Nemugamba nti: owaye umar, obubonero bwa nabbi bwonna mbadde mmaze okubulaba bwennatunudde mu kyenyi ky'omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye okujjako obubonero bubiri bwebubadde bubulayo okubeera nti mugezesa kwekuba nti, obukwata mpola bwe bukulembeera obutamanya (obusungu), obutamanya bwo omuntu tebumwongera okujjako ekisa, era mmaze okumugezesa, era nkujuliza umar nti nsimye Allah okubeera omulezi wange n'obusiraamu nga ddiini yange ne Muhammad nti nabbi, era nkukakasa nti ekitundu ky'emmali yange nze asinga obugagga mu Madiina nkiwadde ekibinja kya Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, umar namugamba nti: oba abamu kubantu be kibinja kya nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye kuba tesobola kubamala, nemugamba nti: kale abamu kubo. Bwatyo umar yaddayo ewa nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye zaid nagamba omubaka nti: nzikiriza nti tewali alina kusinzibwa okujjako Allah era ne Muhammad muddu we era mubaka we, namukkiriza era namukakasa era nalwana ne nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye entalo zonna oluvannyuma n'afiira mulutalo lwe tabuk nga alumba abalabe awatali kudda mabega, Allah asaasire zaid. (swahih bin hibban)

Osanga eky'okulabilako ekinene mu kusonyiwa kwe okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, kwekuba nti weyayingira makkah nga awangudde aba kuraish, bamukunngaanyiza abantu b'omumakkah abamubonereza okutuusa webamuleetera nokuva mu kitundu mweyazaalibwa n'abagamba nti: “mulowooza mbakolere ki?" nebamugamba nti: kirungi muganda waffe ate mutabani wa muganda waffe omulungi. nabagamba nti: “mugende mazima mmwe muli bate" (sunani albaihaqi alkubulah) tirmith naye nagifulumya.

30. Obugumiikiriza: yali okusaasira n'emirembe bibeere ku ye eky'okulabira ko mu bugumiikiriza, nga tannaba kubeera nabbi yali mugumiikiriza eri ebyo abantu bye byebaali bakola mu bikolwa n'okusinza amasanamu, era n'oluvannyuma lw'okwolesa obusiraamu nagumiikiriza nga asuubira empeera okuva ewa Allah eri ebyo ebyamutukako mu kunyiizibwa okwenjawulo mu makkah okusooka, n'oluvannyuma nga ali n'abannanfuusi emadinah, yali kyakulabira ko mu bugumiikiriza bweyavirwako abantu be bayagala, yafiirwa mukazi we khadijah n'abaana be bonna mu bulamu bwe okujjako Fatmah, taata omuto abu twalibu naye n'afa netaata we omuto Hamza okusiima kwa Allah kube ku ye naye mu mbeera ezo zonna yali nga mugumiikiriza era nga asuubira empeera ewa Allah, agamba Anas bin malik okusiima kwa Allah kube ku ye nti: twagenda ne nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye ewa abu saif alkaini nannyini mukazi eyali ayonsa mutabani we ibrahiim, omubaka nasitula Ibrahim namunywegera era namunyweza, oluvannyuma netuddayo nga ibrahiim obulwadde bumutta omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nakulukusa amaziga, abdul rahman bin auf namugamba nti: naawe omubaka wa Allah! Namugamba nti: “owaye mutabani wa aufi mazima okwo kusaasira" oluvannyuma n'ayongerako nagamba nti: “mazima amaaso gakaaba, ate omutima negunyolwa wabula tetwogera okujjako ebyo ebisanyusa Allah, wabula okufaako ggwe Ibrahim tunyoleddwa nnyo" (bukhali).

31. Obwenkanya: yali mwenkanya okusaasira n'emirembe bibeere ku ye mu mbeera ze zonna obwenkanya obutuukiriza amateeka ga Allah. Agamba Aisha okusiima kwa Allah kube ku ye nti: abakuraish yabakwatako ensonga ya omukyala omumakhuzumi eyabba nebagamba nti: ani ayinza okwogera ku nsonga ye ne nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, nebagamba nti: ekyo usamah y'asobola okukikola omwagalwa w'omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, usamah weyayogerako naye yamugamba nti: owolereza ku kibonerezo mu bibonerezo bya Allah !!" oluvannyuma n'abuulira n'agamba nti: "mazima ekyazikiriza ababasooka kwekuba nti ow'ekitiibwa mu bo bweyabba nga nga bamuleka wabula omunafu weyabba nga oyo nga bamuteekako ekibonerezo, mbalayirira Allah, singa fatmah muwala wa Muhammad abba mutemako omukono ggwe" (yegattibwako).

Yali mwenkanya okusaasira n'emirembe bibeere ku ye okutuusa neku yali amwesasuza, agamba Asiyadu bin khudhair okusiima kwa Allah kube ku ye nti: “omusajja omu muba answaar yali anyumiza banne emboozi nga basaaga nga w'abasesa omubaka n'amufumita akaggo keyali nako mungalo ku bitundu bye ebyekyama nga tagenderedde, namugamba nti: njagala kukwesasuza, namugamba nti: “wesasuze" namugamba nti: ggwe oyambadde ekkanzu ate nze siyina siyambadde, omubaka n'awanika ekkanzu ye omusajja natandika okumunywegera ku lubuto nagamba nti: kino kyembadde njagala owaye omubaka wa Allah".(sunani abi dauda).

32. Okutya Allah, yali okusaasira n'emirembe bibeere ku ye asinga abantu bonna okutya Allah, agamba abdu llahi bin masuud okusiima kwa Allah kube ku ye nti,: omubaka wa Allah yangamba nti: “nsomeraamu" nemugamba nti owange omubaka wa Allah nkusomeremu nga ate kura'ane ekka kuggwe! N'agamba nti “iyyee" njagala okugiwulira nga esomebwa, n'ensoma suratt nisaai okutuusa wennatuuka ku tteeka erigamba nti: {ngeri ki bwe tuliba nga tuleese okuva mu buli kibiina mujuluzi? Ne tukuleeta ggwe naawe nga oli mujuluzi ku abo" nagamba nti “komaawo" nentunula gyali nga amaaso ge gattulukuka amaziga" (yegattibwako).

Agamba Aisha okusiima kwa Allah kube ku ye nti: omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye weyalaba nga ekire nga yeetala adda emabega ne mumaaso, nga bwa yingira eno bwafuluma, nakyusa entunula nga enkuba bwetonnya olwo nga akakkana, Aisha n'akimanyisa nabbi namuddamu nti: “kirabika kiri nga ekibinja wekyagamba nti: {bwe baalaba ekire nga kisaasaanidde empuyi z'eggulu nga kyolekedde olusenyi lwabwe. nebagamba nti: ekyo ekire kituleetedde nkuba. Wabula kyo ky'ebyo bye mwasabanga bibaleeterwe bunnambiro kikungunta alimu ebibonyobonyo ebiruma} (ahkafu: 24).

33. Obukkufu n'obugagga bw'omutima: agamba umar bin alkhatwab okusiima kwa Allah kube ku ye nti: nayingira ew'omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nga ali ku kiwempe nga tewali ky'akitaddeko nga omutwe gwe agwesigamizza ku katto k'eddiba nga newaggulu we waliwo eddiba nga liwanike, n'endaba obuufu bwe kiwempe Ku ye nenkaaba, nagamba nti: “kiki ekikukaabya" nemugamba nti owaye omubaka wa Allah mazima kisrah ne kaiswar beyagalira mu byebalina, naye ate ggwe omubaka wa Allah, nagamba nti: “abaffe tosiima bo okuba ne ensi ffe netuba n'enkomerero". (yegattibwako)

34. Okwagaliza ebirungi eri abantu bonna oli newaba mulabe we: agamba Aisha omukyala wa nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: nagamba nabbi nti waliwo olunaku olwasinga okukuzibuwalira okusinga olwa uhud? Nagamba nti: “nasanga byennasanga mu bantu bo, era olunaku lwennasinga okufuna mu bo obuzibu lwelunaku lwa (akaba), wenagenda ewa abdu yalairi bin abdul kalal nga njagala ankuume nsobole okukowoola abantu eri obusiraamu nagaana okusaba kwange bwentyo ne nvaayo nga ndi munakuwavu okutuusa wenatuuka ekarnu tha-alibu, nensitula omutwe gwange ngenda okulaba nga ekire kimbisse waggulu ngenda okulaba nga ndaba jibreel nankowoola nanngamba nti: mazima Allah awulidde abantu byo byebakuzzeemu, era akutumidde malayika w'ensozi nga eyagala ogiragire bulagizi kyoba oyagala, malayika y'ensozi nenkowoola n'empa salaam oluvannyuma negamba nti: owaye Muhammad ' wooba oyagadde mbabikka n'ensozi zino ebbiri, nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nagamba nti “nsuubira abantu abo Allah okujja kumigongo gyabwe abantu abalimusinza mu bw'omu bwe ga tebamugattako kintu kirala kyonna" (yegattibwako).

Agamba ibin umar okusiima kwa Allah kube nti: abdu llah bin ubayi bin salul [4] weyafa, mutabani we Abdu Allah bin bin Abdu Allah yajja ew'omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye namusaba amuwe olugoye mwaba aziika kitaawe, n'alumuwa oluvanyyuma namusaba amusaalire, omubaka n'ayimuka amusaalire, umar n'ayimuka nakwata ku lugoye lw'omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye namugamba nti: owaye omubaka wa Allah omusaalira nga Allah yakugaana okumusaalira? Omubaka namugamba: “mazima Allah yanggamba kulondawo nagamba nti; {k'obeegayiririre okubasonyiwa oba tobeegayiriridde kusonyiyibwa, ne bw'obeegayiririra okubasonyiwa emirundu nsanvu Allah tajja kubasonyiwa} nja kusussa ku nsanvu" nagamba nti: mazima ye munanfuusi, omubaka namusaalira Allah nassa etteeka eligamba nti “tosaalira nga ddala n'omu mu bo aba afudde. era toyimirira nga ku kabuli ye" (attaubah: 84)) yegattibwako).

 

 

Ezimu ku neeyisa ze okusaasira n'emirembe bibeere ku ye

1. Okuba okumpi n'abagoberezi be, n'ebimu ku biraga ekyo kwekumanya empangala ze zonna ezeyawulidde n'ezibuna, kubanga ye okusaasira n'emirembe bibeere ku ye ky'akulabirako ekisaanidde okugobererwa mumbeera zonna, agamba jarir bin abdllah nti: “nabbi teyanngaanako kuyingira gyali okuva wennasilamuka, era teyandabako okujjako nga amwenya, era namuloopera ko okuba nti sinywera ku mbalaasi n'akuba omukono ggwe ku kifuba kyange nagamba nti: “ayi Allah munyweze era omufuule omulungamya alungamya" (yegattibwako). Era yali okusaasira n'emirembe bibeere ku ye asaaga n'abagoberezi be era nga abazannyiikiriza, agamba Anas bin malik okusiima kwa Allah kube ku ye nti: “yali omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye asinga abantu bonna empisa ennungi, nalina muganda wange nga ayitibwa abu umair agamba nti: musuubira, yali muto, yagamba nti: yali bwajja ewa omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye n'amulaba nga amugamba nti: “owaye abu umair, nugairi abadde ki- kyali kinyonyo- agamba nti: yali nga azannya nakyo" (yegattibwako).

Era okusaaga kwe kwali tekukoma ku bigambo byokka wabula yasaaga nga n'abagoberezi be nemubikolwa, agamba Anas nti: munnakyalo omu nga ayitibwa zaahir bin haraami yali nga atonera nabbi ebirabo, nga abimutegekera weyali nga alina gyalaga, nabbi nagamba nti: “mazima zaahir kyalo kyaffe era ffe kibuga kye, agamba nti nabbi yamujjira nga atunda ebintu bye, yamuva mu mugongo nga talaba namunyweza omusajja nagamba nti ndeeka, ani ono ? agenda okulaba nga ye mubaka wa Allah, nagamba nti: ani agula omuddu ono? Zaahiru nagamba nti olaba ndi wa wansi? omubaka wa Allah, namugamba nti wabula ggwe ewa Allah toli wa wansi oba nagamba nti wabula ggwe ewa Allah oli wabbbeeyi" (swahih bin hibban)

Okwebuuza kun bagoberezi be n'okutwala ebirowoozo by'abwe mu mbeera zonna ezitaaliko tteeka kuva wa Allah, agamba abu harairah anti: “siraba nga muntu yebuuza ku bantu be kusinga omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye". (sunani tirmith)

2. Okulambula abalwadde abasiraamu n'abatali basiraamu, yali nga abuuza embeera z'abagoberezi be nga webamugamba nti waliwo omulwadde mu bo nga adduka bunnambiro gyaali ye nebaaba nabo mu bagoberezi be, era okulambula kwe kwali tekukoma ku basiraamu bokka wabula n'abatali basiraamu, agamba Anas anti: “omulenzi omuyahuudi eyali awereza omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yalwala, omubaka nagenda okumulambula, n'atuula emitwetwe we nagamba nti: “siramuka", omuvubuka n'atunula ewa taata we nga ali naye n'amugamba nti: gondera taata kasim, n'asiramuka, nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye naafuluma nga bwagamba nti “amatendo ga Allah oyo amutaasizza omuliro" (bukhali)

3. Okwebaaza amukoledde ebirungi, anti yeyagamba okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: "omuntu aba yeewogomye eri Allah ku mmwe mumuleke (mu mukingirize), era aba abasabye ku lwa Allah mumuwe nga, era abeera nga abayise mumwanukule, n'abakoledde akalungi konna mumusasule kirungi, wemuba temuyina kyakumuwa mumusabire okutuusa wemumanya nti mumusasudde" (sunani abi dauda)

4. Okwagala ebirungi, agamba Anas r anti “sikwata nga ku harir oba dibaaja – bika bya ngoye- bigonda kusinga kibatu kya nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, era siwunyiza nga ku kawoowo kawunya bulungi ng'empunya ya nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye" (yegattibwako)

5. Okwagala okowolereza wonna awabeera akalungi, agamba ibin Abbas okusiima kwa Allah kube ku ye nti: bba wa barirah eyali omuddu nga ayitibwa mugitha namulaba nga yetoloola barirah nga bwakaaba, amaziga nga gakulukuta, nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nagamba abbas nti: “owaye abbas tewewunya kwagala kwa mugitha eri barirah n'obukyayi bwa barirah eri mugitha" nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nagamba barirah nti: “wandizzeeyo ku ba ye taata w'abaana bo" namugamba nti: owaye omubaka wa Allah kiragiro kuva gy'oli? Namugamba nti “mazima nze mpolereza buwolereza" namugamba nti: siyina kyenkyamwagala ko" (swahih bin majah)

6. Okwewereza; agamba Aishaokusiima kwa Allah kube ku ye webamubuuza byeyakola nga ewaka nti: “yali muntu mu bantu, nga ayoza engoye ze n'akama embuzi ze era neyeewereza" (swahih bin hibban). okutuusa nti olw'empisa ze ennungi yali takoma kuweewereza wabula yaweereza nga n'abalala, agamba Aisha mukyala wa nabbi nti: “yali nga awereeza abantu be nga wawulira omukowooze we swala nga afuluma". (swahih bukhali).

 

 

OBUJULUZI (KU NABBI MUHAMMAD) OBW'OBWENKANYA

  • Agamba omutontomi omungereza (gautah) nti: nnoonyerezza mu byafaayo eky'okulabirako ekyawaggulu mu bantu ne nkisisinkana mu nabbi w'abawarabu Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku ye.[5]
  • Agamba omukenkufu (kaith muur) mu kitabo kye (the developing human) nti: sikifunamu buzibu okukkiriza nti kuraan bigambo bya Allah, mazima ebitendo by'omwana mu lubuto lwa nnyina biri mu kuraan tebisoka kumanyika kuva ku kumanya kwa muntu mu kyasa ky'omusanvu, engeri yokka webisoboka okumanyika kubeera nti Allah yassa bubaka ku Muhammad okuva ewuwe.[6]
  • Agamba (wool dayoranat) mu kitabo kye ebyafaayo byenkulakulana ekitundu eky'ekumi n'ekimunti: wetulamula abazira okusinziira ku bye bakyusa mu bantu tugamba nti: mazima omubaka w'abasiraamu ye muzira w'abazira mu byafaayo, yajjawo obusosoze nawangula abayudaaya n'abakuristo wamu n'eddiini y'abantu be enkadde n'eddiini enyangu enneyorefu ey'amanyi era n'esobola okubaawo okutuusa olwaleero, ago amanyi gabulabe nnyo.[7]
  • Agamba (george the tools) mu kitabo kye obulamu nti: okubuusabuusa mu kutumwa kwa Muhammad kuba ku buusabuusa mu buyinza bwa Allah obwo obubuna ebitonde byonna.[8]
  • Agamba omumanyi wireze mu kitabo kye; nabbi ow'amazima nti: obujuluzi bulaga obutuufu bw'omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye olw'okuba nti abantu be ab'okulusegere bebasooka okumukkiriza abo abamanyi ebyama bye, singa baali balina okubuusabuusa mu mazima ge tebandimukkiririzza mu ye.[9]
  • Hill agamba mu kitabo kye (hadhaarat al-arab) nti: tetumanyi yo ddiini yasasaana mu bwangu mu byafaayo nekyusa ensi eno nga obusiraamu, Muhammad yafulumya ekibiina ku nsi kuno nekisobola okusinza Allah ku nsi era n'ateekawo emisingi gy'obwenkanya, n'okuwangala n'abantu era nateekawo amateeka n'enkolagana n'obugonvu wamu n'ekitiibwa mu bantu abaali abaakavuyo.
  • Agamba janlik omusipaniya mu kitabo kye (al-arabu) nti: tosobola kutenda Muhammad kusinga nga Allah weyamutenda mu kigambo kye nti: {tetwakutuma (Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku ye) okujjako kusaasira eri ebitonde} (ambiya 107).

Mazima Muhammad kwali kusaasira era mazima nze musabira Allah n'obwagazi [10]

  • Agamba benard shoo mu kitabo kye obusirasamu oluvannyuma lw'emyaka kikumi nti: mazima ensi yonna eggya kukkiriza obusiraamu, neweriba tebukkiriza nalinnya busiraamu, eribukkiriza mulinnya eryewolebbwa. Akaseera kagenda kutuuka nga abazungu bakakase obusiraamu, ebbanga ddene nga abazungu basoma ebitabo ebijjudde obulimba ku ddiini y'obusiraamu, era nze mpandiise ekitabo ekikwata ku Muhammad wabula kyatebwako emiziziko olw'okusosoze bw'ekunkola y'abazungu.

 

BAKYALA BA NABBI OKUSAASIRA N'EMIREMBE BIBEERE KU YE.

Abakyala be Muhammad okusaasiraam n'emirembe bibeere ku ye yawasa abakyala kkumi nomusobyo oluvannyuma lw'okufa kwa khadijah okusiima kwa Allah kube ku yesnga bonna baali bawasibwako era nga emyaka mikuru okujjako Aisha okusiima kwa Allah kube ku ye yamusa nga mbeerera, mukaaga baali bakuraish, omu yali muyudaaya ate nga abasigadde bali bava mubika bya bawalabu ebirala era nga yalinaki omuzaana omu Mariat alkibutwiyyah era nga yeyazaala Ibrahim era yamuwebwa mukawukashu kabaka we askandriah – namugamba nti: “mazima mmwe mugenda kuwangula misiri nga y'ensi omuva (kibutwi), wemuba mugiwangudde muyise bulungi abantu baayo kubanga muyinamu omugabo n'oluganda, oba nagamba nti: omugabo n'obuko (swahihi muslim). Era nagamba nti: “wemuba mufuze abantu be misiri, mubayise bulungi kubanga mubalinako omugabo n'oluganda" (muswannafu abdul razak) agamba alzzahri nti: oluganda olwa hajarah maaama wa Ismael aleihi salam, ate omugabo olwa Ibrahim mutabani wa nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye.

Omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye okuwasa abakyala abo kyava kunsonga zino:

1. Olw'okulaarika etteeka lye ddiini nga okuwasibwa kwa zainab bin jahshi, abawalabu bali tebakkiriza muntu kuwasa mukyala awasiddwako omwana eyafuulibwa omwana era nga balina enzikiriza nti omwana eyafuulibwa omwana ky'ekimu n'omwana w'omugongo, omubaka namuwasa okumenyawo enzikiriza eyo, Allah agamba: {kale zaid bw'amala okumala obwetaavu ku ye, ne tukumufumbiza kireme okubeera ekibi ku bakkiriza(okuwasa) abakyala b'abo abaana bebafuula abaana abaana baabweolw'okuboola, bwe baaba nga bamaze obwetaavu bwabwe ku bo, kyali ekigambo kya Allah nga kya kukolebwa} (ahzabu 37).

2. Olw'obulungi bw'okukowoola eri obusiraamu wamu n'okugonza emitima nokwagazisa ebika, yafuna obuko okuva mu kika ky'abakuraish ekisinga obunene era ekisinga obunene mu bawalabu, era enkola eyo yalagira abagoberezi be okugigoberera, agamba okusaasira n'emirembe bibeere ku ye abdul rahman bin auf weyamutuma eddawumah aljandal nti: “webaba bakugondedde wasa muwala wa kabaka wabwe" (tarekh altabari 2/12). Agamba (cl. caham)[11]: tuyinza okufunamu enkenyera ku ye olwendowooza zaffe ez'olwaleero olwo obumu kubuwangaazi bwe, nga bweyakakasa (mahtarat) nti omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yali ayagala nnyo ebyokwewunda by'ensi era nasonga ku kuwasa kwe abakyala omwenda abo be yawasa oluvannyuma lwa khadijah okusiima kwa Allah kube ku ye, wabula ekikakafu kiri nti okuwasa kwe okusinga kwali kumusingi gwa bukulembeze era nga yayagalamu kufuma mikwano okuva mubebitiibwa n'ezimu ku ndyo, n'ekilala nti kiri mumagezi mubawalabu omuntu okukozesa obutonde bwe okutuukiriza ekyo Allah kyeyamutondera.

3. Obuntu bulamu, nga okuwasa abakyala ba abagoberezi be abafiira nga muntalo wamu n'ekyo nti baali nga bakulu mumyaka wabula yabawasa olw'okusaasira kubo nokuwa n'okuyisa obulungi babba baabwe abaali nga bafudde.

Agamba omuwandiisi omu Italy l. veccia valglieri[12] mu kitabo kye okutaasa obusiraamu nti: mazima Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku ye mukaseera k'ekivubuka obutonde bw'okwagala akaboozi webuberera ku ntikko, newankubadde yali mu bantu nga abawalabu abaali tebalina mateeka mukuwasa anti okuwasa abakyala abangi yeyali enkola era okuta omukyala kyali kyangu nnyo; yawasa omukyala omu yekka Khadija okusiima kwa Allah kube ku ye eyali omukulu okumusinga era nga yamala emyaka abiri mwe etaano nga yemukyala we yekka omwagalwa awatali kuwasa mulala okutuusa weyafa okusiima Allah kube ku ye, era weyamala okuweza emyaka amakumi ataano egy'obuwangaazi, buli mukyala gweyali awasa yamuwasa nga lwabuntu bulamu oba lwabyabufuzi, ekyo nno lwakuba nti yagenderera nga mukuwasa abakyala abalina ebitendo byokutya Allah kubawa kitiibwa, oba okuteekawo enkolagana n'ebimu kubika okusobola okusiima ekkuba lyokukowoola abantu okujja eri obusiraamu, era nga okuleka Aisha okusiima kwa Allah kube ku ye tewali gweyawasa mubakyala nga nti yali mulungi nnyo oba nti yali muvubuka abaffe oyo omuntu bwatyo ddala yali musajja wabyamasanyu? Yali musajja teyali katonda, era osanga okuwasa abakyala abalala yali anonya baana era newankubadde teyalina byabugagga nga bingi yasalawo yetikke kunsingo ye amaka amanene, naye wamu n'ekyo yasobola okwenkanya wakati wabwe bonna era toyina wokisaanga nti yeekubira kw'omu kubo okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, mazima yeyisa empisa zaabo abamusooka mubanabbi aleihimu ssalamu nga musa n'abalala abo botagenda kusisinkana nti wali omuntu yenna awakanya okuwasa kwabwe abakazi abasukka mu omu, abaffe ekyo kiva kukubeera nti tetumanyi bulamu bwabwe mubulambulukufu ate nga Muhammad ye tumanyi buli ekimukwatako kubalamu bwe n'abantu be.

Ate ye Thomas Carlyle omuwandiisi omungereza amanyikiddwa mu kitabo kye abazira nti: Muhammad tabeera ngako muntu wabyamasanyu nga olese ebyo byebakonjera mubulyazaamanya n'obukyayi, era mubyetusinga okwekubiira nokusobya kwekumutwala nga omusajja owamasanyu …. nga yali wala nnyo nebyokkweyagala.

 

 

OBUMU KU BUJULUZI OBUWANDIIKE OBUKAKASA OBUTUME BWE N'OBWANABBI BWE.

Okova mu kuraane

Agamba omulezi omutukuvu owawaggulu nti: {tabeera ngako Muhammad kitaawe w'omu mu basajja mu mmwe, naye ye mubaka wa Allah era ye Ow'enkomerero mu bannabbi} (ahzaabu: 40)

Era nga isa aleihi salamu yatusanyusa n'obwa nabbi bwa Muhammad mu njiri nagamba Allah mutabani wa Mariam bwe yagamba: {abange abaana ba isorairli! mazima nze ndi mubaka wa katonda gye muli, era ndi akakasa amazima g'ebyo ebiri mumaaso gange ebiri mu tauraati, era ndi mulanzi (alanga) omubaka alijja oluvannyua lwange nga erinnya lye ye Ahmad} (alswaf: 6)

Allah agamba nti: {abo abagoberera omubaka, nabbi atasoma biwandiike era atawandiika, oyo gwe baasanga nga awandiikibbwa we bali mu tauraati n'enjiiri. nga abalagira empisa ennungi n'abagaana empisa embi. Nga abakkiriza okulya ebirungi n'azizaku bo okulya ebibi ' era nga abajjako obuzito bwabwe n'ebikoligo ebyo ebyabaliko. Kale n'abo abamukkiriza, nebamuwagira, nebamutaasa era ne bagoberera ekitangaala ekyo kye yassibwa nakyo: abo bo be b'okwesiima} (al-arafu: 157).

 

Okuva mu sunna za nabbi entukuvu

Ekigambo kye okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: “nze ne bannabbi abalala kiringa omusajja bwanazimba ennyumba ye naginyiriza okujjako ettaffaali limu mu nsonda, abantu nebatandika okuyitawo nga bewunya nti lwaki lino ettaffaali teyaliteekawo? Nagamba nti nze ettaffaali eryo era nze nabbi asembayo" (yegattibwako).

 

Okuva mu bitabo by'omuggulu ebyasooka[13]

OKUVA MU TAURAAT (ENDAGAANO ENKADDE).

Agamba Atwa-u bin yasar nti “nasisinkana abdul llah bin amru bin al-as okusiima kwa Allah kube ku ye nemugamba nti: mbulira ko ku bitendo bya nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye mu tauraat, nagamba nti: tofaayo, mulinnya lya Allah mazima ye yatendebwa mu tauraat n'ebimu kubitendo ebiri mu kuraan “owaye ggwe nabbi mazima twakutuma nga oli mujulizi era omusanyusa atiisa era atangira abakkiriza, gwe oli muddu wange era omubaka wange, nkutuumye (mutawakkiru) toli wa boggo oba jjawo ekibi n'ekibi wabula oli asonyiwa ate eyeesonyiwa era sijja kumutta okujjako nga aterezezza enkola enkyamu era bagambe nti tewali alina kusinzibwa okujjako Allah era agawulire " (swahihi albukhali).

Agamba omukenkufu abdul al-ahad daud[14] nti: .. ngezezzaako okwesigama mu kuyisinganya endowooza kubitundu ebimu okuva mukitabo ekitukuvu ekyo ekitawa mwagaanya kuwakana mu lulimi, era sijja kugenda mu lulatini oba lu angrikani oba olu (aramiah), kuba ekyo temuli kuwakana, wabula nze ndeeta ebyo byokka ebiwandiike awatali kwongeramu okuva mu (kopi) eyekennenyezebwa era nesaasanyizibwa ekitongole ky'ebitabo ebitukuvu ebungereza n'okuva wabweru, katusome ebigambo bino wansi okuva mu ekyamateeka 18:18 "Ndibayimusiza aabbi ku baganda baabwe, afaanana nga ggwe; era nditeeka ebigambo byange mu kamwa ke, era alibabuulira byonna bye ndimulagira".

Ebigambo ebyo webiba nga tebiri ku (Muhammad) awo biba tebiribaawo, masiihu mwennyini teyagambako nti gwebaali bagamba, era nabayigiriza be ekyo kyebaaliko era nga bakimanyi nti masiihi agenda kukomawo asobole okukakasa obwa nabbi era okutuusa kati kikyali kinywevu awatali kugyibwawo"olwokuba nti okujja kwa masiihi okwasooka " yali talaga byajja okutwaliza awamu" mbateerewo nabbi nga ggwe" era newanaaba akomyewo ogw'okubiri era ajja kuba ku makulu g'ebyo ebigambo.. era masiihi nga kanisa wemukkiriza ajja kujja nga mulamuzi so ssi kuleeta mateeka mapya, wabula (omulindwa) y'oyo agenda okujja nga asitudde amateeka agaaka mu mukono ggwe ogwa ddyo"

Wewetegereza ebikwata ku nabbi oyo omulindwa,mazima obwa nabbi obulala obuteebwa ku musa bwe bwo, era mu ngeri ki, kiyamba nnyo bwetuba twogera ku kitangaala ekiva mu nsozi ze makkah, oluvannyuma mazima ebigambo okuva mu tauraat mu ne mu Ekyamateeka (33:2) egamba bino " N'ayogera nti Mukama yava ku Sinaayi, Era yabagolokokera ng'ava ku Seyiri; Yamasamasa okuva ku lusozi Palani, N'ava eri obukumi bw'abatukuvu: Ku mukono gwe ogwa ddyo kwaliko amateeka ag'omuliro gye bali: "era nga tewali kakwate wakati w'abaana ba isirayiri ne Palani kubanga Hajarah nemmutabani we Ismael betoloola mu lujja lwo oluzzi emirundi musanvu era nga abo oluvannyuma bebafuuka abatuuze be Palani". (oluberyeberye 21:21 "N'atuulanga mu ddungu ery'e Palani: ne nnyina n'amuwasiza omukazi mu nsi y'e Misiri") maama we namufunira omukyala okuva emisiri era okuva mumwana we asooka adnan mwemuva abazzukulu abawalabu abo okuva olwo bebatuuze be Palani era nga bagifuula nsi yabwe, bwaba nga (Muhammad) nga bwekimanyiddwa nti ava mu lulyo lwa Ismael nemutabani we adnan ate neyeeyoleka nga nabbi okuva mu nsozi za Palani oluvanyuma n'ayingira makka nabakkiriza mutwalo gumu era najja namateeka agayakaayakana eri abantu abaffe obwo ssi bwe bwa nabbi obwogeddwako obwatuukirira nga webuli? Oluvannyuma mazima obwa nabbi obwajja mu (batume) bwetaagisa okwetegereza buli bwebuti " obutukuvu okuva mu lusozi Palani ekitiibwa kyabwo kyabikka eggulu n'ensi era nebibuna okutendereza nokutukuza era nerinnya (hamdu) wano lirina amakulu agomugaso olwokuba nti erinnya (Muhammad) litegeeza nukuta kunukuta (awanibwa),ate nga nabawalabu abatuuze be Palani baali basuubizibwa okujja kw'obubaka " Eddungu n'ebibuga byamu biyimuse eddoboozi lyabyo, ebyalo Kedali mw'atuula; abatuula mu Seera bayimbe, boogerere waggulu nga bayima ku ntikko z'ensozi. Bamuwe Mukama ekitiibwa, era babuulire ettendo lye mu bizinga. Mukama alifuluma ng'ow'amaanyi; alibakwasa obuggya ng'omutabaazi: alireekaana, weewaawo, alyogerera waggulu; alikola abalabe be eby'amaanyi. " (isaya 42: 11-13)

Era kunsonga eyo waliwo amawulire ga mirundi ebiri agetaagisa okwekennenyezebwa kubanga waliwo weboogerera ku Adnan mu lunyiriri (60) mu essuula (isaaya), era nga wewalwo obwa nabbi obulala obuli mu isaaya 21:13-17 "Omugugu oguli ku Buwalabu. Mu kibira mu Buwalabu mwe mulisula, mmwe ebibiina ebya Abadedeni ebitambula. Oyo eyalumwa ennyonta baamuleetera amazzi; abatuula mu nsi ey'e Teema baasisinkana abadduse n'emmere yaabwe. Kubanga badduka ebitala, ekitala ekisowole, n'omutego omunaanule, n'obubi bw'entalo. Kubanga bw'atyo Mukama bw'aŋŋambye nti Omwaka nga tegunnaggwaako, ng'emyaka egy'omusenze akolera empeera bwe gibeera, ekitiibwa kyonna ekya Kedali kiriggwaawo: n'abalifikkawo ku muwendo gw'abalasi, abasajja ab'amaaayi ab'oku baana ba Kedali, baliba batono: kubanga Mukama, Katonda wa Isiraeri, akyogedde." era nga bulaga nti waliwo obubaka okuva mu nsi za abawalabu. Soma obubaka obwo okuva okuva mu isaaya nga webwajja mu kimu ku bitabo bya tauraati ebyo ebyoogera ku kujja kwekitangaala kya Allah okuva mu Palani.

Mazima bwaba nga Ismael yali mutuuze mu nsozi za Palani era nga ye taata wa Adnan era nga oyo abawalabu mwebava, wekiba nga kiwandiike nti abaana ba adnan bagenda kufuna obubaka okuva ewa Allah, era wekiba nti kubaana ba Adnan kwebugenda okweyoleka era bukkirizibwe webasalira awatukuvu n'ekitiibwa kubanga ekizikiza kyali kibetoolodde akaseera kawanvu oluvannyuma ekifo ekyo nekyaniriza ekitangaala okuva ew'omulezi, era bwekiba nga ekitiibwa ekyakakasibwaku adnan n'abo abakasusi b'obusaale enkumu wamu nebitiibwa by'abazira mubaana ba adnan …. Abaffe waliwo ebigambo ebyo gwebitegeeza okujjako omuntu omu ava mu Palani era nga ye; (Muhammad) (Kabakuuku 3:3 "Katonda yajja ng'ava ku Temani, Era Omutukuvu yajja ng'ava ku lusozi Palani (Seera) Ekitiibwa kye kyabikka ku ggulu, Ensi n'ejjula ettendo lye.")

Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku ye ava mu lulyo lwa Ismael taata wa adnan oyo omutunzewe Palani, era nga Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku ye ye nabbi omu yekka abawalabu gwebakkiriza oluvannyuma lw'ekizikiza okubuna ensi yonna era nga okuva awo ekitangaala kya Allah nekisasaana mu Palani era nga makkah ky'ekifo kyokka ekitenderezebwamu erinnya ly'omulezi mu nyumba ye era nga abantu ba adnan webajja bakkiriza obubaka mu kifo webaasalira (mu nyumba ya Allah), Muhammad y'omu eyanyigirizibwa abantu be n'akakibwa okusenguka era oluvannyuma lw'omwaka gumu nga amaze okusenguka yasisinkana abaana ba adnan ebadr era nga kyekifo awali olutalo olwasooka wakati w'omubaka n'abantu b'emakka, era oluvannyuma abaana ba Adnan bawangulwa era(abaali bakutte obusaale) oluvannyuma ebitiibwa bya abaana ba adnan byeyoleka, webaba nga ba nabbi abatukuvu ssi bebajja n'obubaka obwo kitegeeza nti obubaka obwo tebulibaawo? n'ekirala nti enyumba y'omulezi eyo mwebamutendereze era eyayogebwako mu mu isaaya (60: 7)" Endiga zonna eza Kedali zirikuŋŋaanyizibwa gy'oli, endiga ennume eza Nebayoosi zirikuweereza: zinaalinnyanga ku kyoto kyange ne zikkirizibwa, era ndissaamu ekitiibwa ennyumba ey'ekitiibwa kyange. " ye kaaba eri emakkah sossi kanisa ya yesu nga abavvunuzi abakuristaayo webalowooza era n'endiga za adnan ezogerwako mu lunyiriri (7) ssi ye kanisa ya masia, era amazima gali nti ebibuga bya Adnan nabatuuze baamu bebantu bokka abatakyusibwa na njigiriza ya kanisa, era nga bwekiri nti omuwendo gwo omutwalo ogumu ogwogerebwako ogwa abatukirivu nga bwekiri mu tauraat (isaaya 32) bw'osoma ebyafaayo byonna ebikwata ku nsozi za Palani tugenda kusisinkana yo kyafaayo kirala ekitali kya nabbi weyawangula makkah yamuyingira n'abakkiriza omutwalo gumu okuva emadinah oluvannyuma naddayo ku nyumba ya Allah nga mu mukono gwe ogwa ddyo mulimu amateeka ago agafuula amateeka agasigadde enfuufu, era nomwooyo ow'amazima (bar kaleeti) masiah gweyalanga tali mulala okujjako Muhammad era tetusobola kugamba nti ye gibril nga abamu webagamba kuba masiah agamba (mazima kinnetaagisa okugenda ewala kubanga wesigenda wala mazima (bar kaleeti) tajja kujja gyemuli wabula ate nze wengenda nja kumubasindikira) ebigambo ebyo bitegeeza awatali kubuusaabuusa nti mazima (bar kaleeti) yali alina okujja oluvanyuma lwa masiah era nga teyali naye mukaseera weyayogerera ebigambo ebyo, abaffe tugambe nti masiah teyaliko mwoyo mutukuvu ? ekyokubiri engeri masiah weyamunyonyola eranga nti muntu sossi malaika " ajja kuba teyeyogerako wabula nga atuusa eri abantu ebyo byaaba ayogedde" abaffe tugambe nti oyo yali Allah na mwoyo mutukuvu, bitonde bibiri bimanyikiddwa ate mwoyo mutukuvu yeyogerako era nayogera n'ebyo byawulira okuva ewa Allah.

Mazima ebigambo bya masiah biraza n, obwanjulukuvu eri abamu kw'abo Allah beyatuma, mazima ye yamuyita omwooyo ow'amazima ate nga ne kuraan nayo eyogera ku Muhammad n'ekitendo ky'ekimu kyennyini negamba nti: {wabula yajja n'amazima gennyini era yakakasa amazima g'ababaka} (swafaati 37),

OKUVA MU INJIIRI (ENDAGAANO EMPYA).

Waliwo obujulizi bungi okuva mu injiiri (endagaano empya) obulaga okujja n'obwannabbi bwa Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku ye obwatula oba okwogera ku mirimu gye egimu.

Yokaana (1:20-25) "N'ayatula, n'ateegaana; n'ayatula nti Si nze Kristo.
 Ne bamubuuza nti Kale lw'oli ani? oli Eriya? N'agamba nti Si nze ye. Ggwe nnabbi oli? N'addamu nti Nedda. Awo ne bamugamba nti Lw'oli ani? tubaddemu abatutumye. Weeyita ani? N'agamba nti Nze ndi ddoboozi ly'omuntu ayogerera waggulu mu ddungu nti Muluŋŋamye oluguudo lwa Mukama, nga nnabbi Isaaya bwe yayogera. Abaatumibwa baali ba mu Bafalisaayo. Ne bamubuuza, ne bamugamba nti Oba ggwe toli Kristo, oba Eriya, oba nnabbi oli, kale kiki ekikubatizisa? "

Nabbi ayobwako mu buwandiike obwo ssi ye isah emirembe gibeere ku ye wabula ye Muhammad kubanga yokana yali akowoola abantu kumulembe gwa musa naye nga asuubiza abantu okujja kwa nabbi. (yokaana 14:16)

Mu bigambo bya isa mwennyini agamba bwati: " Nange ndisaba Kitange, naye alibawa Omubeezi omulala, abeerenga nammwe emirembe n'emirembe."

Ekigambo omuyambi mu injiiri kye perekeeti (periqlyto's) oba (paraclete) oba (paracalon) era kitegeeza Ahmad, era nga kuraan yayogera ku Ahmad nga linnya lya nabbi Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nga bwekiri mu surat alswaf.

Mu injiiri ya barunabba mulimu nti isa okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yagamba nti: Allah agenda ku nsitula okuva ku nsi akyuse ekifananyi ky'omukumpanya buly'omu alowooze nti y'oyo naye awamu n'ekyo bwanaaba afudde enfa embi eyo nja kusigala n'akamogo ako ebiseera byonna mu nsi wabula Muhammad omubaka wa Allah omutukuvu bwanajja kijja kunvaako. [15]

Era nga bwekyajja mu njiri ya barunabba nti adamu weyafukamira ku bigere bye yalaba mu bbanga ekitabo ekiyaka nga enyumba nga kiwandikibbwamu " lailaha illa llahu Muhammad sulu llah" nanywegera omuntu eyasooka n'essanyu ly'omuzadde ebigambo bino n'asiimuula mu kyenyi kye nagamba: olunaku olwo lwa mukisa lw'ogenda okujjiramu mu nsi eno[16]

 

 

 

Oluuyi lw'obujuluzi obw'amagezi obukakasa obubaka n'obwa nabbi bwe okusaasira n'emirembe bibeere ku ye.

1. Yali omubaka Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nga tamanyi kusoma oba okuwandiika nga mu bantu bwebatyo batono mu bo abali bakisobola wamu n'ekyo tewali abuusabuusa mu bubaka obwamukkako n'alowooza nti biva mu ye Allah agamba: {era nabwekityo tewali gwe (Muhammad) eyali asoma ekitabo kyonna mu kusooka (nga tonnasibwako bubaka) obwo wadde okukikwasaako omukono gwo ogwa dyo, (singa kyali bwekityo) bandibadde babuusabuusa abo abawakanya (obubaka obwo).} (ankabuuti 48). Na jja okusaasira n'emirembe bibeere ku ye n'ekyalema abawalabu okuleeta ekikifaanana, nekibeera nga ekyamagero ekyenkomeredde ye kuraan eyo eyamukkako, agamba okusaasira n'emirembe bibeere ku ye:" tewali nabbi yenna okujjako nga yawebwa obubunero nga okusinziira ku bwo abantu bamukkiriza, era nange n'ekiba nti ekyampeebwa bwebubaka obwanzikako okuva ewa Allah era nga nsuubira okusinza abagoberezi abangi olunaku lw'enkomerero" (yegattibwako)

Newankubadde abantu be baali bakugu mu lulimi lwabwe, kuraani yabasomooza okuleeta ekigifaanana era baalemwa, oluvannyuma n'abagamba baleete essuula emu nga efaanana emu ku ziri mu kuraan, Allah nagamba nti: {bwe muba nga muli mu kubuusabuusa mw'ekyo kye twassa ku muddu waffe (Muhammadi) kale muleeteyo essuula efanagana nga kkyo era muyite abajulizi bammwe abatali Allah omutonzi bwemubeera ab'amazima (mu kubuusabuusa kwammwe)} (albaqarah: 23).

Era nasomooza ebitonde byonna. Nagamba nti: {Gamba nti: singa abantu bonna n'amageege babadde bakunggaanye mbu bateekewo ekifaananyi ky'eno kuraane, tebandisobodde kuleeta kifaananyi kyayo newankubadde nga babadde abamu bayamba bannaabwe.} (israai 82).

2. Obutakoma kukowoola bantu eri busiraamu newankubadde nga yafuna obuzibu obutangambika n'okulwanagana wakati we n'abantu be okusaasiras n'emirembe bibeere ku ye era wamu n'ekyo yagenda mu maaso n'okutambuuza obusiraamu obwa mutumwa era yagumiikiriza eri ebyo ebyali bimutuukako n'okunyigirizibwa okuva mu bantu be olw'okuba nti yali ali ku busiraamu, singa mazima bwali bulimba nakweyita bweyisi ate nga yali takisobola okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yandibadde abireka era natiisa omutima gwe okuzikirira olwe ebyo byeyafuna okuva mu bantu be mu kumulwanyisa, n'obumalirivu bwabwe ku kusaanyaawo eddiini busiraamu, agamba dr.m.h.durrani[17] nti: mazima obukkiriza obwo n'obumalirivu obwatwala Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku ye ku buwanguzi, mazima ddala kabonero akalaga amazima ge mu kukowoola kwe, kubanga aba kubaamu nakubuusabuusa kwonna oba okutya yandibadde tasobola kunywera mu maaso g'ebizibu byeyafuna okumala emyaka abiri miramba abaffe waliwo akabonero akasinga awo mu kulaga obujjuvu bw'empisa n'obunywevu bw'omwoyo, ebyo byonna bitutwala kunsonga gyetutasobola kwebalama, nga kwekukakasa nti; omusajja oyo mubaka wa Allah w'amazima, oyo ye nabbi waffe Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, mazima yali kabonero olwebitendo byeyalina ebitasangika, kyakulabirako ekijjuvu eri obulungi, era nga kabonero eri amazima n'okusiimisa Allah, era obuwangaazi bwe n'endowooza ze n'amazima ge n'obunywevu bwe n'okutya Allah n'enzikiriza ye byonna ebyo bubonero ku bwa nabbi bwe. Omuntu yenna asoma ebyafaayo bye nga teyekubidde akakasa nti mazima oyo mubaka okuva ewa Allah era nti kuraane gyeyajja nayo eri abantu kitabo kya Allah amazima, era buli muyivu amunonyerezaako atuuka kukulamula okwo.

3. Kimanyikiddwa nti buli muntu yenna – mubutonde- ayagala ebyokwewunda bye ensi eno nga emmaali, n'ebyokulya n'ebyokunywa n'okuwasa, agamba Allah owa waggulu nti: {twawundira abantu okwagala ebyegombebwa; nga abakyala n'abaana endulundu n'endulundu za zaabu ne feeza n'embalaasi enjigirize n'ebisolo ebirundibwa n'ennimiro. ebyo bintu bya bulamu bwa nsi ne Allah w'ali wewali obuddo obulungi} (al imranan 14). Era nga omuntu alwana nyo okubeera nti atuuka ku bintu ebyo mu mbeera zonna n'amakubo,wabula abantu bawukana mu kubifuna, waliwo ababifuna mu makubo amatuufu ate newabawo ababifuna mu makubo agatali matuufu, wetumanya ekyo tugamba nti mazima omubaka wa Allah okuva weyatandika okukowoola kwe, abantu be bamulamuza okumuwa kyonna kyayagala mubyokwewunda bye nsi era nebamusuubiza okutuukiriza byayagala byonna nebyasaba, waba nga ayagala bukulu bamukuze, oba ayagala kuwasa bamuwe omukyala asinga obulungi, oba ayagala ssente bamuwe ku kakwakkulizo nti aleke eddiini empya n'okukowoola abantu okudda eri yo, n'abagamba nga alina obwesiggwa okuva ewa Allah nti " sisobola kukikola ekyo okujjako nga mujjeeyo enjuba nemugissa wansi" sirisiratu alswahihi 1/194. Singa bwali bulimba kyatasobola okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, yandibadde akkiriza bukkiriza anti kubanga byebaali bamuwa buli muntu yenna byanonya kuno ku nsi, agamba dr. m. h. durrani[18], yagumiikiriza emyaka kumi n'esatu mu buzibu (emmakah) awatali kudda mabega, nemirala munaana nga ali mu madinah[19] awatali kuyimirizaamu. Wadde okwenyenyamu wabula yasigala nga munywevu nga ali ku kigendererwa kye, abantu bayagala okumuwa eby'obugagga bye nsi ave ku busiraamu alekere awo n'okukowoola abantu n'abigaana byonna era n'asalawo aboneebone ku lw'eddiini ye, lwaki yali tafaayo ku bya bugagga na bitiibwa n'obwakabaka n'okubeera mu mirembe? Omuntu yetaaga okukirowooza ko ennyo bwaba yagala okufuna okwanukula okutuufu.

4. Ekimanyikiddwa era ekirabibbwa omuntu yenna bwafuna obukulu buli ekibeera wansi we mu birungi n'abantu abikozesa nga bwayagala, wabula Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku ye akimanyi nti ensi si yakubeerako lubeerera, Ibrahim nga ajja ku alkama nga ajja ku Abdu Allah agamba nti: omubaka yebaka ku kiwempe nekimusala emisalo ku mubiri gwe nemugamba nti: mazima owaye omubaka wa Allah singa otukkiriza netukufunira ekintu kwewebaka, nagamba nti okusaasira n'emirembe bibeere ku ye: " siyina kyendi ku nsi kuno okujjako nga omutambuze eyewogomye mu kisikirize wansi w'omuti oluvannyuma nagenda n'avaawo" (sunan tirmith).

Amwogerako nu-uman bin bashiir okusiima kwa Allah kube ku ye nti: " mazima nalaba nabbi wammwe okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nga talina wadde entende enfu - gyasobola eyokulya …" (swahih muslim).

Ate abu hurairah agamba nti: " tebakuttako mmere abantu ba Muhammad ennaku ssatu (eziddiringanye) okutuusa bweyafa" (yegattibwako). Wamu n'ekyo nti ssemazinga wa abawalabu yenna yali amukkiririzaamu era nga yensonga ya buli kalungi abasiraamu kebafuna wabula ye nga tafuna kyakulya kimumala oluusi, agamba mukyala we Aisha okusiima kwa Allah ku be ku ye nti: "nabbi yagula emmere ku mu yudaaya kubbanja nasingayo engabo ye" (swahih bukhali)

Tekitegeeza nti yali tasobola kufuna kyayagala, eby'obugagga n'ebirungi byamujjira nga nabigabira abaavu n'abetaavu, nemubagoberezi be mwalimu abalina eby'obugagga n'ebirungi era nga bavuganya mu kumuweereza era nga bawayo ebyebbeeyi byabwe ku lulwe wabula ye okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yali amanyi obutuufu bwe ensi eno nagamba nti: "mu linnya lya Allah teri ensi eno ku nkomerero okujjako nga omu omu mmwe bwanateeka olugalo lwe luno – n'alaza olugalo lwe oluddiridde olusajja mu Nyanja-, alabe kiki kyajja nakyo" (swahihi muslim).

Agamba lady.E. Cobold[20] mu kitabo kye okukola hijja emakkah (London 1934): newankubadde Muhammad yeyali omukulu wa ssemazinga w'abawalabu, teyayaglako bitiibwa oba akolere obugagga wabula okubeera omubaka wa Allah era omuwereza w'abasiraamu alongoosa enyumba ye n'engatto ze n'emikono gye, yali mugabi agondera amateeka ga Allah nga alinga empewo kikummunta mu kugaba, nga taleka mwavu oba mwetaavu okujjako nga amuwa ekyo kyalina, kyokka nga ebiseera ebisinga teyafuna nga kimumala nga ye omuntu.

5. Mazima okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yali nga afuna embeera eyakanyigo nga yetaagisa okunnyonyola natasobola kukyolesa olw'okuba nti tewali bubaka bukyogeddeko, nawangaala akaseera mu buzibu era n'ekyokulabirako kyekyafaayo ky'okukonjera mukyalawe Aisha, abalabe baamala omwezi mulamba nga boogera ku mubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nga bayingirira ensa ze okutuusa obubaka bwebwakka nga bwejjeereza mukyala we gwebaali bakonjera, singa yali mulimba -ekitasoboka ku ye okusaasira n'emirembe bibeere ku ye – yandibadde ajjawo obuzibu obwo nga bwakajjawo naye tayogera okujjako nga amaze kufuna bubaka.

6. Mazima ye teyeesitula ko nti ali waggulu w'abantu era yali okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nga tasiima nkolagana yonna eraga nti wakitiibwa, agamba Anas okusiima kwa Allah kube ku ye nti: tewali muntu gwe yali asinga kwagala nga omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, agamba nti: "baali webamulaba tebasituka olwokuba nti baali bakimanyi nti akitamwa." (sunan tirmith)

Agamba (W. irving)[21] nti: newankubadde yawangula empangula eze kisirikale eziwerako, tekyamuleetera kwekuluntanza oba kweyibaala, yali alwana lwa busiraamu so ssi ku lulwe nga omuntu era yali atamwa okuyingira awali abantu nebasituka nga bamwaniriza oba okuyitiriza mu kumwaniriza, newankubadde yali ayagala okuteekawo ensi ennene, mazima ye nsi y'obusiraamu, yalamulizaamu obwenkanya, era teyakirowooza nako nti ateekewo obuufu obwe nsikirano ku bantu be nnyumba ye.

7. Okukka kw'amateeka agamu mu kuraane nga ganenya nabbi Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku ye olwenneyisa oba okuyimirira ku nsonga okuva ku mubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, gamba nga: ekigambo kya Allah: {owange gwe nabbi! lwaki oziza ekyo Allah kye yakukkiriza, nga ononya okusiima kwa bakyala bo? Ne Allah musonyiyi musaasizi} (altahreem: 1).

Era nga ekyo kyali nti yali okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nga yeziyizzako okunywa omubisi olwa abamu kubakyala be, okunenya nekuva ew'omulezi we olwekyo.

Era nekigambo kya Allah: {Allah yakusonyiye (gwe Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku ye), lwaki wabakkiriza n'otalinda okutuusa lwe bandikweyolekedde abo abakkiriza n'omanya nabalimba} (altaubah: 43).

Mazima omulezi we yamunenya mu tteka eryo olw'okwanguyiriza okukkiriza ebisonyiwo eby'obulimba okuva mu bannanfuusi abo abagaana okugenda mu lutalo lwe tabuk nabasonyiwa awatali kubagezesa asobole okumanya ab'amazima ku balimba.

Ekigambo kya Allah: {tekyali kisaanira ku nabbi okuba nga abeera n'abawambe okutuusa nga amalidde ddala okugonza (abalabe) mu nsi. mwagala mwagala ebyokufuna by'ensi ne Allah ayagala nkomerero, ddala Allah ali wamu n'abagumiikirza.} (al anfaal:67).

Aisha okusiima kwa Allah kube ku ye yagamba nti: "singa nabbi yali wakukweka kintu kyonna kwebyo Allah bye yamussaako, yandibadde akweka etteka lino {.. gwe n'okweka mu mutima gwo ekyo Allah ky'anaayolesa, n'otya abantu so nga Allah y'asinga okukakatirwa okuba nga gw'otya} (yegattibwako).

Nekigambo kya Allah: {toyina kintu mu kusalawo kw'ekigambo…} (al imrani:128).

Nekigambo kya Allah: {yeekabye n'ajja emitaafu n'akyuka. bw'amujjidde omuzibe. Kiki ekikumanyisa oba olyawo anaatukula} (abasa: 1-3).

Mazima singa yali mulimba – kyatasobola okusaasira n'emirembe bibeere ku ye- ago amateeka agamunenya tegandibadde mu kuraane.

 Agamba (Lightner)[22] mu kitabo kye eddiini y'obusiramu: (lumu Allah yassa obubaka ku nabbi we okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nga bumunenya olunenya olw'amanyi olw'okuba yakyuka n'aleka omusajja omwavu omuzibe asobole okwogera n'abasajja abagagga abalina obuyinza, era obwo obubaka bwasaasaana, mazima singa nga webagamba ababuyabuya abakaturiki ku ye obwo obubaka tebwandibaddemu.

8. Osanga n'obujulizi obutaaliko kubuusabuusa obukakasa obubaka bwe ye suula masad okulamula okwatukirira kweyajja nakwo ku taata we omuto abu lahab nti wa mu muliro, essuula eyo yakka mu ntandikwa y'okukowoola kwe okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, singa yali mulimba – kyatasobola okusaasira n'emirembe bibeere ku ye- yali tasobola kuleeta kulamula kwankomeredde bwekutyo kuba taata we omuto yali asobola okusiramuka! Agamba dr Gary Miller [23]nti: omusajja oyo yali tayagala busiraamu ekisusse ekkomo nti yali nga agoberera Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku ye buli weyegenda nga asobole okukondeesa ekitiibwa ky'ebigambo bye okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, nga bw'alaba omubaka nga ayogera n'abantu abapya nga alinda namaliriza oluvannyuma bw'agenda nga ababuuza nti abadde abagamba ki Muhammad ? bw'agamba nti kyeru kiba kiddugavu, bw'abagamba nti kiro kiba misana naye nga kyeyali ategeeza nti baawukane kwebyo byayogera omubaka owekitibwa okusaasira n'emirembe bibeere ku ye era abantu babuusebuuse mu Muhammad, nga nabbi tannaba kufa emyaka kkumi, essuula yakka mu kuraane nga eyitibwa masad, essuula eyo yakikakasa nti abu lahabu wakuyingira muliro, nga kitegeeza nti abu lahab tagenda kuyingira busiraamu naye mu myaka ekkumu talina kyeyakola okujjako okugamba nga abantu nti: Muhammad agamba mbu:nze sigenda kusiramuka era ngenda kuyingira muliro, wabula nze essaawa eno yennyini nnangirira nti njagala kuyingira busiraamu nfuuke omusiraamu!! Mulaba mutya awo? abaffe ebigambo Muhammad byayogera bituufu? Abaffe obubaka bwaleeta buva wa Allah?"

Wabula abu lahabi ekyo kyamulema newankubadde yali bulijjo buli akola kyannyume kya nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye wabula yalemererwa okumwawukana ko kw'ekyo, nga ekyafaayo kiringa ekigamba nti: mazima nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye agamba abu lahabi onnetamwa era oyagala ku mmalawo, kirungi guno mukisa sazaamu ekigambo kyange! naye teyasobola mu myaka ekkumu egijjudde!! teyasiramuka wadde okwefuula omusiraamu! Mu myaka kkumi yali asobola okusanyaawo obusiraamu mu dakika emu, naye olw'okuba nti ebyo ssi bigambo bya Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku ye wabula bubaka okuva ew'oyo amanyi ebyekwese, amanyi nti abu lahabi tali siramuka.

Muhammad yanditegedde atya nti abu lahab agenda kunywerera kwekyo ekiri mu surat masad webuba nga tebwali bubaka kuva wa Allah? Abeera atya omukakafu mumyaka ekkumi bweddu nti kyaliko g'emazima, singa yali tamanyi nti bubaka kuva wa Allah?

Omuntu okutekawo okusomooza okw'obulabe bwekutyo tekisoboka okujjako okufunamu nti obwo bubaka okuva ewa Allah.

Allah agamba; {Gizikiridde emikono gya Abi Lahabi naye nazikirira! Temugasizza emmaali ye nebyo byonna byeyafuna. ajja kwesogga omuliro ogulina ennimi. ne mukazi we omwetissi w'enku. mu nsingo ye nga mulimu omuguwa omulange mu bugwoogwa!} (almasad: 1-5).

9.Erinnya lya ahmad lyajja mu kuraane mukifo kya Muhammad mu kigambo kya Allah: {era mu kiseera issa mutabani wa Mariam bwe yagamba: abange abaana ba israili! Mazima nze ndi mubaka okuva ewa Allah gye muli, era ndi akakasa amazima g'ebyo ebiri mu maaso gange ebiri mu tauraati, era ndi mulanzi (alanga) omubaka alijja oluvannyuma lwange, nga erinya lye ye ahmada. naye ate bwe yamala okubajjiran'obujuluzi obw'enkukunala, nebagamba nti: kino (ky'alese) ddogo eryeyolefu!} (alswaf: 6). Singa yali mulimba –kyatasobola okusaasira n'emirembe bibeere ku ye – teryandibadde eryo erinnya mu kuraane.

10. Eddiini ye okusaasira n'emirembe bibeere ku ye ekyaliwo okutuusa kati era abantu bagiyingira mubungi era nebagisinza amadini amalala, newankubadde nti efuna obuyambi butono nnyo obwe nsimbi n'abantu ebyo ebigenda mu ku kowoola eri bwo, nga kwogasse nekawefube ataliimu kuddirira mu kukiziyiza okusaasaana kw'obusiraamu naye okutuusa kati Allah yeyimirira okukuuma eddiini eyo nagamba owekitiibwa: {mazima ffe twassa (kuraane) era ddala mazima ffe tujja okugikuuma} (al-hijri: 9).

Agamba omuwandiisi omungereza Th. Carlyale[24] ku Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku ye: abaffe mwali mulabye wa omusajja omulimba atekawo eddiini eyewunyisa? Mazima tasobola kuzimba nyumba mu bulooka nga tamanyi biziyunga, tekikwewunyisa kusigala kumpagi za yo ebyaasa kumina bibiri nga esulamu abantu abasukka obukadde bibiri naye nga tesaana wo, mazima nze mmanyi nti omuntu asobola okutambuza obulamu bwe bw'aba nga sigadde kububumbwa wekitaba ekyo alemwa okwanukula ebyetaago bye. bulimba bwebatambuza abo aba abatali basiraamu ne bwebabuwunda okusobola okukyayisa amitima. kigezo abantu okukwenya kwenya abantu amawanga n'emigigi nga bakozesa obubuze obwo.

11. Okukuuma kuraane oluvannyuma lw'obukuumi bwa Allah eri mu bifuba bya abantu okuva mulembe ku mulembe kubanga okugikwata n'okugisoma byebimu buli musiraamu kyalulunkanira era nga kusindana ku byo wakati w'abasiraamu okusobola okufuba ebirungi ebigirimu agamba omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye: " abasinga obulungi yoyo ayiga kuraane era nagiyigiriza" (swahihi bukhali).

Bagezezzaako okujongeramu oba ogikendezaamu emirundi egiwera oba okukyusa ku zimu kunnukuta zaayo naye byonna nebigaana olw'obwangu obukozesebwa mu kubizuula n'okwawula kwa amateeka ga kuraane

Ate enkola ya nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye entukuvu era nga yensibuko ey'okubiri eri eddiini y'obusiraamu, yakuumibwa n'abasajja ab'amazima abenkanya abeewayo okunonyereza kunkola y'omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, nebanyweza entuufu era nebanyonyola ennafu, era neboogera kwezo empatiike, era oyo aba atunudde mu bitabo by'ebigambo bya nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye ebifaayo kw'eyo ensonga, amanya obutuufu bw'amanyi gebassaamu okusobola okukuuma buli kintu ekiva ku nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye era najjawo okubuusabuusa ku buli kyonna kyebagamba nti kituufu kyava ku ye okusaasira n'emirembe bibeere ku ye.

Agamba Michael Hart[25] mu kitabo kye okusoma ekikumi ekisooka: " Muhammad yatandikawo era nasasanya emu ku ddiini ekyasinze okuba ey'amanyi mu nsi yonna era n'afuuka omu ku bamanyi abakulembeze abakukunavu[26], munnaku zino oluvannyuma lw'okuyitawo ebyaasa kumina bisatu nga afudde obuufu bwe bukyaliwo.

Okuba nti bye yajja nabyo okusaasira n'emirembe bibeere ku ye bigenda nabuli mulembe: era nebirungi wamu n'emikisa ebiva mu ku bikolera ko, kiraga nti byeyajja nabyo bubaka okuva ewa Allah omutukuvu owa waggulu, ekirala abaffe waliwo ekigaana okuba nti okusaasira n'emirembe bibeere ku ye atumwa okuva ewa Allah nga mubaka okuva ewa Allah nga Allah yatumako ababaka oluberyeberye lwe ate mu bungi ? wekiba nti okwanukula kuli nti tewali kigaana mu magezi nemumateeka, lwaki ogaana obubaka bwe n'obwa nabbi bwe okusaasira n'emirembe bibeere ku ye eri abantu bonna ate n'okkiriza obubaka bwa ba nabbi abamusooka ?.

12. Okuba nti entegeka n'amateeka obusiraamu bwebyajja n'abyo nga biyita ku lulimi lwa Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku ye mu nsonga ez'okukolagana n'entalo n'okuwasa n'ebyenfuna n'obukulembeze n'okusinza Allah…. Teri muntu yenna asobola kuleeta bibifaanaana, abaffe omusajja atamanyi kusoma oba wadde okuwandiika ayinza okuleeta entegeka ejjudde embeera ye nsi yonna? Abaffe ekyo tekiraga butuufu bwe nti mubaka wa Allah era nti tayogera okujjako nga buba bubaka?

13. Okuba nti teyatandika kukowoola bantu okujjako nga awezezza emyaka aana nga emyaka gy'obuvubuka n'amanyi nga giweddeko era obukulu nga buzze n'okwagala emirembe, agamba (th. Carlyl) [27] mu kitabo kye ekya abazira: … n'ebimu ku biraga obulimba bw'abo abalimbisa Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, kwekuba nti yamala ebiseera bye eby'obuvubuka n'amanyi mu mbeera ey'emirembe nga mutebenkevu (nga ali ne khadijah okusiima kwa Allah kube ku ye) naye teyagezaako kwagala bitiibwa oba bukulembeze oba nti kumanyika…era obuvubuka bwamala kuvaawo natandika emyaka gy'obukadde ekifuba kye nekiryoka kigendamu ensonga eyo eyekitiibwa.

Ate ye R. Landau[28] agamba mu kitabo kye obusiramu n'abawalabu: ekigendererwa kya Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku ye kyali kinene, tekyali kyangu nti kyesigamidde ku kweyagaliza eri ye nga omuntu- nga ky'ekimu ku kitendo kyebamuteekako omubaka omuwalabu abamu ku bawandiisi abazungu- nti oba yali asuubira nti agenda kuwangula olw'amanyi ge nga omuntu, mazima okukola ku lwa Allah kweyayolesa mu kutuusa obubaka bwe okusaasira n'emirembe bibeere ku ye n'obukkiriza abagoberezi bwe bwe baali balina obujjuvu eri ebyo byeyajja nabyo mu bubaka nebigezo by'emirembe n'ebyaasa, ebyo byonna biraga nti ssi kya mu magezi okumukonjera Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku ye n'obukumpanya bwonna nga bwekiri nti ebyafaayo tebirina ddiini yonna ekakasibwa nga yasobola okuwangaala obuwangaazi obuwanvu nga obusiraamu olwalero buwangadde okusukka emyaka lukumi mu bisatu, ate nga buli kanaku waliwo ababweyungako,.

 

 

 

OKUKAKASA NTI MUHAMMAD MUBAKA WA ALLAH KITEGEEZA KI?

1. Okukakasa obubaka bwe okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti era bubuna eri abantu bonna, obubaka bwe tebukoma ku bantu be bokka wabula bubaka obubuna, tebuliko kkomo ku bifo oba oba obudde okutuusa enkomerero bwelituuka, agamba Allah owa waggulu: {yatukula n'agulumira oyo eyassa kuraane eyawula wakati w'amazima n'obulimba ku muddu we alyoke abeere omutiisa eri ebitonde.} (al furkan: 1)

2. Okukkiriza nti mutuukirivu kw'ebyo byatuusa okuva ewa Allah omutukuvu, agamba Allah: {era tayogera nga ajja ku kwagala kwe. Teri yo (kuraane eyo gy'abasomera), wabula bubaka obuwerezebwa} (al-nnajimu: 3-4).

Wabula embeera ze ezisigadde muntu era okulamula kwe yali nga akozesa magezi ge okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nga bwagamba: "mazima mujja ne muwaaba emisango, wabula oluusi abamu mu mmwe baba bamanyi okuwoza okusinga abalala n'ennamula okusinziira kubyempulidde, omuntu yenna gwempa emmali ya munne tageza n'agitwala, kubanga wagitwala abeera atutte kitereke kya muliro" (swahih bukhali ne muslim).

3. Okukkiriza nti okutumibwa kwe kusaasira eri ebitonde. Agamba Allah owa waggulu: {tetwakutuma wabula nga oli kyakusaasira eri ebitonde (byonna).} (ambiya-u: 107). Allah yayogera mazima kubanga ye kya kusaasira buli kyekitegeeza ekigambo ekyo' yajja abaddu ba Allah ku kusinza abantu eri okusinza omulezi wa abaddu, n'abajja ku kwekubira n'abateeka ku bwenkanya bwe ddiini y'obusiraamu n'abajja ku kanyigo ke ensi n'abalaga obugazi bwe enkomerero.

4. Okukkiriza okutaliimu kubuusabuusa nti ye mubaka asembayo era nga yasinga ababaka bonna era nti teri mubaka oluvannyuma lwe, agamba Allah owa waggulu: {tabeera nga Muhammad kitaawe w'omu mu basajja mu mmwe, naye ye w'enkimerero mu ba nabbi era Allah amanyi buli kintu} (al –ahzaabu: 40).

5. Okukkiriza okutaliimu kubuusabuusa nti eddiini yajjulira ku ye, tewali kifo kyakujongeramu oba okukendezaako olw'ekigambo kya Allah: {olwaleero mbajjulizza eddiini yammwe era ne mbajjuliza n'ekyengera kyange ne mbasiimira mmwe obusiraamu okuba eddiini} (almaidah: 3).

Ekyo nno kyeyoleka bulngi okuba nti obusiraamu eddiini embeera z'obulamu zonna ez'obufuzi, eby'enfuna, empangaala n'empisa, kweggamba yo ddiini ate nsi nga wukiwulira. Agamba omukwenkufu omungereza (kwelem)[29],mu kitabo kye (enzikiriza y'obusiraamu 119-120) ennamula za kuraane tezikoma ku byampisa na ddiini.. ye ssemateeka abuna ensi yonna ey'obusiraamu, era nga ssemateeka abuna ensonza z'obusuuzi n'ezabulijjo, entalo n'obulamuzi, oluvannyuma ssemateeka wa ddiini eyetololwa ko buli ekikwata ku ddiini n'obulamu buno obw'ensi, wamu n'okukuuma emyoyo n'emibiri, n'obuvananyizibwa bwa abakulembebwa nabuli muntu, nabuli kalungi akadda eri omuntu kinnomu n'ekibinja, n'okuwolera egwanga ku nsi kuno ne ku nkomerero.. n'olwekyo kuraane eyawukana ku bitabo bya abakurisitayo ebitukuvu omutali bikolo bya ddiini wabula bijjudde byafaayo bukyamu mu nsonga z'okusinza.. era nga ssi kyamumagezi era nga kizibu okukyusa omuntu.

5. Okukakasa okutaliimu kubuusabuusa nti mazima yatuusa obweyamuobwo Allah bweyamuwa era natuusa obubaka n'abulirira ekibiina kye, era tewali kalungi okujjako nga yabalaamira okukakola, era tewali kikyamu kyonna okujjako nga yabewaza okukikola olw'ekigambo kye okusaasira n'emirembe bibeere ku ye mu kulamaga kwe okw'okusiibula nga abuulira mu bantu enkumi n'enkumi, " bannange ntusizza? " nebagamba: ye, nagamba " ayi Allah beera mujulizi" (bukhali ne muslim).

6. Okukkiriza nti amateeka ge ago agamukka ko geegokka agakkirizibwa ewa Allah oluvannyuma lw'okutumwa kwe, era Allah tasinzibwa nagatali go, era Allah ssi wakukkiriza gatali go, era nga agenda kubala ebitonde okusinziira ku go agamba Allah: {n'omuntu anonya obutali busiraamu okugifuula eddiini, si yakukkirizibwa kuva gy'ali naye ku lunaku lw'enkomerero aliba wa mu bafaafaaganiddwa} (al-imran: 85).

Era nga bwagamba okusaasira n'emirembe bibeere ku ye: " ndayira oyo akutte omwoyo gwa Muhammad mu ngalo ze tewali ampulira mu kibinja kyange muyudaaya oba mukurisitaayo oluvannyuma n'atakkiriza ebyo bye najja n'abyo okujjako nga agenda kubeera mu bantu b'omuliro" (swahih muslim)

7. Okumugondera okusaasira n'emirembe bibeere ku ye olwekigambo kya Allah: {n'omuntu agondera Allah n'omubaka, abo bali wamu n,abo Allaha be yagabira ebyengera mu bannabbi, nabakkiriza ab'amazima, n'abajulizi, n'abalongoofu: baalongookerwa abo ab'omukwano} (alnnisai: 69).

Ekyo no kibeera kuteeka mu nkola ebiragiro bye n'okwewala ebyo by'aba aganye olwekigambo kya Allah: {n'ekyo kyonna omubaka ky'abaleetera mukitwale nga, era n'ekyo ky'abagaana nga, mukireke ngayo, mazima Allah alina ebibonerezo ebiyitirivu} (alhashir: 7)

Allah nanyonnyola ebiva mu kumujemera okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nagamba: {n'oyo ajeemera Allah n'omubaka we nasukka ebikomo by'amateeka ge, alimuyingiza omuliro – wakubeera mu gwo lubereera, era alina ebibonyobonyo ebinyoomesa} (alnisai: 14)

8. Okusiima okulamula kwe okusaasira n'emirembe bibeere ku ye era awatali kuwakanya mateeka ge oba enkola ye olwekigambo kya Allah: {nedda ndayidde mukama wo, tebajja kukkiriza okutuusa lwe banakulamuzisanga ku buli ebyo ebyabayombesezza wakati wabwe, n'oluvannyuma ne batasigala mu myoyo gyabwe kakunkuna konna mw'ekyo ky'oba olamudde wabula ne bagoberera olugoberera} (alnisai:65)

Era nga bwekiri nti amateeka ge n'okulamula kwe biyina okukulembezebwa ebyo ebitali bibye mu mateeka n'okulamula ne ssemateeka wamu n'endagirira olw'ekigambo kya Allah: {abaffe okulamula kw'obutamanya kwe bagaala? Naye ani asinga Allah okulamula okulungi eri ekibiina ekitegeera} (al maida: 50)

9. Okugoberera enkola ye olw'ekigambo kya Allah: {gamba nti: bwe muba mwagala Allah mungoberere; olwo Allah abaagale era abasonyiwe ebibi bya mmwe ne Allah musonyiyi musaasizi} (al imraan: 31).

Okugoberera obuufu bwe n'okutambulira ku nkola ye n'okumufuula eky'okulabira ko agamba Allah owa waggulu: {mazima mwalina mwe mu mubaka wa Allah eky'okugoberera ekirungi kw'oyo abeera asuubira (empeera) za Allah (n'okusisinkana) olunaku olw'enkomerero, n'ayitiriza okwogera ku Allah} (al-ahzaabu:21)

Era okugoberera omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye kikakasa ku muntu okusoma ebimukwata ko n'okubimanya mw'ekyo asobole okumugoberera, agamba zainu al-abdeen – ali bin alhasan bin ali bin abu-twalibu-okusiima kwa Allah kube ku ye: twasomesa nga entalo za nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nga bwetusomesa emu ku ssuula za kuraane. (albidaaya wa nihaya li-ibin kathir:3/242) n'entalo kitundu kubyafaayo by'omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye.

10. Okumussa mu ddaala Allah lyeyamussa mu nga tewali kusukka kikomo wadde okumukendeeza. olw'ekigambo kye: " temunsussa kkomo nga aba kurisitaayo webasitula isa mutabani wa mariamu, mazima nze ndi muddu wa Allah, mugambe nti muddu wa Allah era omubaka we" (abukhali)

11. Okumusabira okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nga ayogeddwako, olwekigambo kya Allah: {mazima Allah ne bamalaika be basabira nabbi. abange mmwe abakkiriza! mumusabire nga era mumulamuse nga olulamusa (olumusaanira)} (al ahzaabu: 56) era olw'ekigambo kye okusaasira n'emirembe bibeere ku ye:"omukodo asinga y'oyo gwemba njogeddwa erinnya lyange waali natansabira " (sunan tirmith).

12. Okumwagala n'okumuwa ekitiibwa okusinga buli atali ye, olw'okuba nti alina omukono oluvannyuma lwa Allah ku kulunggama kw'abantu eri eddiini y'obusiraamu eyo omuntu bw'aba agiyingidde afuna okwesiima ku nsi n'enkomerero agamba Allah: {gamba nti: bwe babeera nga bakitammwe, ne batabani bammwe ne baganda bammwe, ne bakyala bammwe, n'aboluganda lwammwe, n'emmaali gye mukoze ne mufuna n'ebyokusuubula bye mutya okudiba, n'amayumba ge mweyagalira mu, bye bisinga okwagalwa gye muli okusinga Allah n'omubaka we n'okulwana mu kkubo lye; kale mulindirire okutuusa Allah lw'anaaleeta ekiragiro kye, ne Allah talunngamya kibiina ky'aboononyi} (altaubah: 24)

Mazima yanyoyola okusaasira n'emirembe bibeere ku ye ebiva mukumwagala bweyagamba omusajja eyamubuuza nagamba: owaye omubaka wa Allah enkomerero ya ddi? Namugamba okusaasira n'emirembe bibeere ku ye " kiki kye wetegekedde ku yo?" omusajja namugamba nti: siyina kusiiba kwamanyi oba kusaala oba swadaka wabula njagala Allah n'omubaka we, omubaka namugamba nti: " oli wakubeera nooyo gwoyagala" (yegattibwako)

Era nemukigambo kye okusaasira n'emirembe bibeere ku ye " ebintu bisatu omuntu waba nabyo afuna obuwoomu bw'obukkiriza, okwagala Allah n'omubaka we okusiinga ebisigadde, okwagala omuntu nga amwagala ku lwa Allah, okwetamwa okudda mu bukafiiri oluvannyuma lwa Allah okubumujjamu nga bwa atya okkasukibwa mu muliro" (yegattibwako).

Era okumwagala okusaasira n'emirembe bibeere ku ye kiyina okugobererwa okwagala abo be yayagala okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nga abantu be nju ye n'abagoberezi be okusiima kwa Allah kube ku bo bonna, era n'okuwalana abo beyali awalana kubanga yali tayagala okujjako nga ayagala ku lwa Allah era nga tanyigira okujjako ku lwa Allah

13. Okukowoola eri eddiini ye n'okufuba okugisaasanya eri abantu n'okugituusa eri oyo gwe tatuuka nga ko, n'okuzuukusa enkola ze n'amagezi wamu n'embulira ennungi mu kuyita mu kusomesa atamanyi n'okujjukiza omugayaavu era n'okuyamba kwa agoberera okukolera ku kigamba kya Allah: {kowoola (abantu) okujja eri ekkubo lya mukama wo n'amagezi n'okubuulira okulungi, era obakaayanye n'ekyo ekisinga obulungi} (alnahal: 125). Era olw'ekigambo kye okusaasira n'emirembe bibeere ku ye: "tuusa okuva ku nze newankubadde tteeka limu" (albukhali)

14. Okumulwanirira wamu n'enkola ze okusaasira n'emirembe bibeere ku ye mu kuyita mukugaana ebyo byonna bye bamupatiika ko okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nga omuntu ate nga ali wala nyo nabyo n'okunyonyola ekituufu eri oyo atakimanyi era n'okutaasa enkola ze n'okuddamu ebibuzabuuza ku zo ebyo ebitambuzibwa abalabe b'obusiraamu abe nsalwa.

15. Okwenyweza kunkola ye okusaasira n'emirembe bibeere ku ye olw'ekigambo kye okusaasira n'emirembe bibeere ku ye " mwenyeze ku nkola yange ne nkola y'abasika bange abalunngamya, mugyekwateko n'amanyo amagego, era mbewaza okuzuula mu ddiini kuba buli kizuule buba bubuze" (musnad imam ahmad)

 

 

 

Okumaliriza

Katumalirize n'ekitontome ky'omutontomi omufalansa (lamarateen) nga ayogera ku kitiibwa kya Muhammad agamba: (tekiba ngawo oluberyeberye ku muntu mukwagala oba mubuwaze okuba n'ekigendererwa ekyawaggulu bw'ekityo, mazima kyali waggulu wa busobozi bw'omuntu,ku kyo obubuze wakati w'omuntu n'omulezi we ne buvaawo era, ku kyo omuntu n'asobola okukwatagana ne Allah, era ku ye ekirowoozo ky'okusinza Allah kyakomyawo obutuufu bw'akyo n'obulunggamu wakati w'amasanamu amangi abantu gebaali basinza mu kaseera ako, tewali muntu yali akoze kintu kisukka busobozi bwa muntu nga akozesa amakubo amanafu bwegatyo, olw'ensonga nti mwennyini yeyetaba mu kutuukiriza ekiluubirirwa ekinene era nga tewali yamuyamba ko okujjako abasajja abatono ennyo mwa abo abamukkiriza mu mpagi eyo etamanyikiddwa eyo mu ddungu.

 Ekisembayo: tewali muntu yali asobodde kutuukiriza nkyukakyuka bwetyo ennene ey'enkomeredde mu nsi eno, kubanga ebyaasa bibiri tebyawera oluvannyuma lw'okweyoleka kw'obusiramu okujjako nga obusiraamu bwebufuga ssemazinga wa buwalabu nga bakozesa obukkiriza n'ebitala, oluvanyuma mu linya lya Allah natabaala iran ne khurasaani ne wakati w'emigga ebiri ne buyindi ne Syria ne habasha n'amambuka ga Africa n'omuwendo oguwera ku bizinga ssemayanja ow'omasekkati, spain n'ebimu ku bitundu bya bufalansa.

Wetutunuulira obukulu bw'ekirubirilwa kye, n'ebbula ly'ebikola (obitono), sako n'obuwanguzi obutagambika (obwewunyisa bweyatuukako); ne tukozesa ebyo ebisatu nga kwetupimira obuzito bw'omuntu; ani ayinza okupima Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku ye n'omuntu yenna ow'amanyi, abo ab'amanyi aboogerwako baavumbula byakulwanyisa, oba ssemateeka omukolerere, oba obwa ssekakabaka obwamanyi byokka, tebalina kyebateekawo okujjako ensengeka yabya nsimbi ebiseera ebisinga kyekyali nga mu ndaba zaabwe.

Naye omusajja ono teyakankanya majje na ssemateeka n'amadiini n'amatwale n'ebika n'obwakabaka kyokka, wabula yakankanya obukadde n'obukadde bw'abantu abaali batuula ku kimu eky'okusatu ky'ensi eno yonna mu kaseera ako, okwongereza kwebyo yakankanya bukatonda n'ebitukuzibwa, n'amadini n'endowooza, n'enzikiriza wamu n'emyoyo, n'abiteeka ku bulunngamu bw'ekitabo ekyo buli kyayogerwa mu kyo lyafuuka ssematteka asengeka. yatandikawo ekibiina eky'awamu nga kirimu buli kika kya muntu buli langi, buli nsibuko, era nabuli lulimi, yatulekera eky'enjawulo ekitasobola kuva ku kibiina kya busiraamu nga kwe; kukyawa okugatta ku Allah n'ekintu ekirala, era n'okusinza Allah yekka oyo atasisinkanibwa maaso, bwe batyo abakkiriza webeyawukanira nga benyweza n'amanyi ku Muhammad, nga bayimirira okulwanyisa bakatonda abapatiike ne shiriki oyo addugaza eggulu, okuyingira kw'ekimu eky'okusatu ky'ensi eno mu ddiini ye kyali ky'amagero oba ekituufu tetugamba kyali ky'amagero kya musajja wabula ky'amagero ky'abwongo.

Ekirowoozo ky'okusinza Allah omu kyeyali akowolerako abantu wakati w'engero n'okusinza okukyamu ebyali bisigiddwa mu bantu okuva mu nkola yabalaguzi n'abaweereza b'amasanamu, ekyo kyokka kyali ky'amagero, ky'asoboka bunnambiro okwogerebwa era ku kyo amasabo negamenyebwa era omuliro negukumwa mu nsi yonna, mazima obulamu bwe n'endowooza ze ku nsi kuno n'enkyukakyuka ze ez'obuzira mu kulwanyisa obwononefu mu nsi ye n'okwewayo abasamize ne bamunyiigira, n'okuguma okunyizibwa emyaka kumi n'etaanu[30] nga ali makkah, era n'obugumiikiriza bwe ku bulyazaamanya bw'abantu n'okukakkanya kwabwe n'afuuka ennunuzi y'abwe ebyo byonna nga tebimuziyiza kugenda mu maaso na kukowoola kwe, entalo ze okulwanyisa empisa n'enkola enkyamu ez'ababuyabuya, n'obukkiriza bwe obw'omunda okuwangula, n'obuwombeefu bwe mu buzibu, n'obwetowaze bwe mu buwanguzi, n'ekirubirirwa kye ekyali kizimbibwa ku ndowooza emu awatali kwagala kitiibwa wadde obukulembeze, n'okusaala kwe okutaakutukawo, n'okuwanjaga kwe eri Allah, n'okufa kwe n'okuwangula kwe okungi oluvannyuma lw'okufa kwe, byonna ebyo bitulaga nti tetuli mu maaso ga muntu mulimba, wabula ffe tulina bukkiriza obunywevu obutayugayuuga, era obumativu bwe bwamuwa amaanyi okuyimirizaawo eddiini ye, nazimba enzikiriza ye ku misingi ebiri okuba nti Allah ali omu n'okubeera nti talabwako, omusingi ogusooka tumanya Allah y'ani, ate ogw'okubiri gukwatagana ku kumanya ebyekwese, mazima mugezi, mubuulizi, mutegesi w'amateeka, mulwanyi, muwanguzi, muyiiya, mubaka, matandisi we ddiini ey'amagezi n'okusinza awatali bibumbe na masanamu, era omukulembeze we (empaya) amakumi abiri mu nsi nga ogasse ko n'eyemyoyo etalina kkomo, ono ye Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, wetupumisa ebipimo byonna ebipima obuzito n'ekitiibwa ky'abasajja twebuuze nti waliwo asinga Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku ye?)

Mu mazima owaye omubaka wa Allah nze nzikiriza nti sikuwadde mugabo gwo era situukiriza ky'osanidde mu kitabo kino era ebiwandiikibwa kubeera kulaza bulaza, nakufunza ku bikwata ku mubaka ow'amanyi oyo okujja kwe okwavira ko okubbira kw'abasamize oluberyeberye, era buli mulembe kubbikiza abagoberera emitima gy'abwe n'abalina ebigendererwa by'ensi eno, n'abalina obwagazi nga obw'ebisolo abaluubirira okusinzibwa abantu.

Mazima nze nnina essuubi okuva ewa Allah mu kitabo kino okubeera ennongosereza kw'ebyo eby'apatiikibwa ku mbeera y'owekitiibwa mu bulimba, era nga kisimuluzo ky'okwongera okumanya ebikwata ku mbeera z'owekitiibwa eyatulaga buli kalungi, era omwewaza buli kabi konna, era oyo ebigambo bye n'ebikolwa bye ebitwalibwa nga mateeka era enkola etuusa omuntu ku kusiima kwa Allah eyatukula owawaggulu ne ku jjana ye, era tukube amabega enkola z'abakitaffe ne bajajja ffe ezitazimbibwa ku kumanya era enkola zaffe zibe nga zizimbibwa ku kumanya n'okusengejja, nakulowooza okulunngamu kw'ebyo byetuba twagala okunnyikiramu (mu nzikiriza) n'okuzikolerako.

 

 

Abd Ar-Rahman bin Abd Al-Kareem Ash-Sheha

 

../../../../../../../Documents/MY%20SITES%20&%20PROJECTS/PROJECTS%20&%20SITES/ISLAML

www.islamland.com

[email protected]

 

 

../../../../../../../Documents/MY%20SITES%20&%20PROJECTS/PROJECTS%20&%20SITES/ISLAMLAND/profil

 

 

[1] Obubaka bwa Muhammad emisomo munaana ku byafaayo bya nabbi n'obubaka bw'obusiraamu. alsaid sulaiman alnnadawi p (114-115)

[2] Kiyina okumanyibwa nti abalabe b'obusiramu bawukana mu kusoma obusiramu, waliwo abagenderera okunoonya amazima era nga abo ebiseera ebisinga allah abalaga ekituufu nebakigoberera, newabawo abanoonya awali obunafu okusiinziira kundaba zabwe enkyaamu okusobola okubulwanyisa nokubujjawo nga bayita mu bintu ebibuzabuuza byebaleeta era ne ba buteka ko obulimba n'obukyamu era nga abo amanyi gab we gagendera bbule, ate abalala basoma obusiramu nga ekika ky,okumanya era nga eddiini era nga abo ebiseera ebisinga baleeta ebituufu era n'ensonga enyanjulukufu.

[3] Kitabo kingereza (1795-1881) mu kitabo baayogera ku busiramu ekya dr l imaadu ddiini Khalil p124

[4] Yemukulu w'abannanfuusi teyakoowa ko okuva nabbi weyolesa okukowoola abantu eri obusiramu kuleeta bizibu nakukolagana na ba yudaaya wamu n'abasamize mukukola kaweefube wokukomya eddini n'okunyiiza omubaka okusaaira kwa allah kube ku ye nga okukulembere emboozi y'okukonjera mukyaala wa nabbi n'okugaana okulwaana n'omubaka wa Allah okusaasira nemirembe bibe kuye olunaku lwa uhudi n'akomawo n'abagoberezi be era nekigambo kye mu lutabaalo lwa ban muswtwalak nti: bwetunadda emadinah abebitiibwa bagenda kujjamu aba wansi.

[5] Muhammad mu mbisa zo okumanya ezitekuubiira/ Muhammad uthman p/20

[6] Musomesa mu mateeka g'abaana mu unibersity ye Toronto Canada l mu kitabo muhammda yagobolola era teyasalwa masia dr / abdul mu-utwi alddallalat

[7] Ekya waggulu

[8] ekiyise

[9]ekiyise

[10] ekiyise

[11] Yazaalibwa omwaaka 1909 n'afuluma mu tendekero lye salubuun era nebamulonda okusomesa mu somero ly'ennimi mu buva njuba bwa parisi oluvannyuma nafuuka omutendesi mu tendekero ly e (siturasiburg omwaaka 1945 ' mu kitabo kye bayita: bayogera ku busiraamu dr. imadu ddiini Khalil p/ 126

[12] Mu kitabo: bayogera ku busiramu dr imadu ddiini

[13] Omusomi amanye nti tetukkiriziganya na bimu kubiri mukitabo kino nga biva mu tauraati wabula tubireeta bibeere obujulizi eri aba yudaaya na kurisitaayo okuva mu bitabo by'abwe ebyo byebakkiririza mu

[14] Mu kitabo Muhammad mu kitabo ekitukuvu ekyawandikbwa omukenkufu / abdul al-ahad daud- nga yali mu yudaaya/ okuvvunulwa kwokutegeera

[15], mukitabo ekiyise p/ 93

[16] Mu kitabo: Muhammad yagobolola era masiah teyasalwa dr / abdul mu-utwi alddallala

[17] Obulamu bwe obumu yakola ko nga kabona mu kkanisa mu mwaaka 1939 -1963 oluvannyuma n'asiramuka, biva mu kitabo; bayogera ku busiraamu p/ 106-107

[18] Yakola obulamu bwe obumu nga kabona mu kkanisa oluvannyuma n'asiramuka, biva mu kitabo: bayogera ku busiraamu p/ 105-106

[19] Ekituufu ku ye kiri nti yamala emyaaka kkumi mu madinah

[20] Bayogera ku busiraamu

[21] Mustashrik omumerika, bayogera ku busiraamu p/95-96

[22] Munonyerezi omungereza, fasuma (dokitorate) ezisukka mw'emu mu mateeka ne filosofa. biva mu kitabo; bayogera ku busiraamu

[23] Mu kurisitayo mugundiivu nnyo mu Canada yasiramuka n'afuuka omukowooze w'obusiraamu owamanyi mu Canada, yali omu ku bakowoola abantu eri obu kurisitayo era omu kubakugu b'ekitabo baibuli era nga ebyo bijjibwa mu kitabo (kuraane almudhahhal)

[24] Mukitabo; bayogera ku busiraamu

[25] Mu merika yafuna empapula mu sayansi era nafuna dokutorate mu by'obwengula mu tendekero lye barson, omwaaka 1972 era nga akola mu tendekero ly'okunonyereza era nga omu ku ba manyi abesigamwa ko mu fizikisi owemikono. Biva mu kitabo; bayogera ku busiraamu

[26] Ffe tukakasa nti tewala ayina bitendo era nga yasinga abantu bonna

[27] Bayogera ku busiraamu p/124

[28] Munenyi omungereza asomesa emisomo gy'ekisiraamu ne buva kkono wa Africa mu America mu san fransisco (1953). Biri mu kitabo; bayogera ku busiraamu

[29] Bayogera ku busiraamu

[30] Ekituufu kiri nti yamala emyaaka kumina esatu emakkah nga akowoola